Nyenga, Uganda
Nyenga kabuga mu emu ku munisipaali mu Disitulikiti y'e Buikwe, mu masekkati ga Uganda . Divizoni ya Nyenga y'emu ku divizoni essatu ezikola e kibuga Njeru . Divizoni endala ebbiri ye Wakisi Division ne Njeru Division . [1]
Ekifo wekisangibwa
[kyusa | edit source]Nyenga esangibwa mu Munisipaali y’e Njeru, nga kiro mita 7 (4 mi), ku luguudo, mu bukiikaddyo bwa Divizoni ye Njeru , ekitundu ky’ebyobusuubuzi ekiri wakati mu munisipaali. [2] Endagiriro z'ekibuga Nyenga mu Uganda ze zino:0°22'48.0"mumambuka; 33°09'00.0"mu buvanjuba (Obukiika ddyo:0.3800; obukiika kkono:33.1500). [3] Nyenga esangibwa ku buwanvu bwa mita 1,232 (4,042 ft), waggulu w’obugulumivu bw’ennyanja . [4]
Obungi bw'abantu
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 2015, Uganda Bureau of Statistics (UBOS) yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu divizoni ya Nyenga gwali 50,400. Mu mwaka gwa 2020, ekitongole ekivunaanyizibwa ku bungi bw’abantu kyabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Nyenga mu makkati g’omwaka gwali 55,600. Ku bano, 28,200 (50.7 ku buli 100) baali bakyala ate 27,400 (49.3 ku buli 100) baali basajja. UBOS yabalirira nti omuwendo gw’abantu mu Nyenga gweyongera ku kigero kya wakati wa bitundu 2.0 ku buli 100 buli mwaka, wakati wa 2015 ne 2020. [5]
Ebintu ebyenkizo
[kyusa | edit source]Ebintu bino wammanga biri munda mu Nyenga oba okumpi nayo: (a) Ekkanisa ya Nyenga Roman Catholic Church [6] (b) Nyenga Mission Hospital, era St. Francis Hospital Nyenga, ddwaaliro ly’abantu bonna ery’ebitanda 75 eryatandikibwawo mu 1932 nga eddwaaliro ly’ebigenge . Litwalibwa essaza ly'abakatoliki eya Lugazi . [7] (c) Saint Joseph Minor Seminary Nyenga [8] (d) Essomero lya Saint Francis School of Nursing and Midwifery [9] ne (e) Ennyumba y’abaana eya Nyenga Children's Home in Uganda, amaka amanene ag’abaana abataliiko mwasirizi. [10] [11]
Oluguudo lwa Mukono–Kyetume–Katosi–Nyenga luyita mu Nyenga mu ngeri ey’enjawulo mu bukiikaddyo bw’amaserengeta okutuuka mu bukiikakkono bw’obuvanjuba mu kkubo erigenda ku lutindo lw'ensibuko y’omugga gwa Kiira . [12]
Laba nabino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://redpepper.co.ug/2020/10/musoke-dumps-nrm-over-electoral-fraud-nominated-independent/
- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Njeru/Nyenga+Mission+Hospital,+Nyenga/@0.4047091,33.1260868,14z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e7be1b33fe749:0xc6466f47bd92f662!2m2!1d33.1492106!2d0.4263679!1m5!1m1!1s0x177e79e5e0861d37:0xb6d016dfbf97a135!2m2!1d33.1522167!2d0.3838925!3e0
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'48.0%22N+33%C2%B009'00.0%22E/@0.3826041,33.14999,986m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.38!4d33.15
- ↑ https://www.floodmap.net/Elevation/ElevationMap/?gi=227324
- ↑ https://www.citypopulation.de/en/uganda/central/admin/buikwe/SC0437__nyenga/
- ↑ https://www.google.com/maps/place/St+Francis+of+Assiss+Nyenga+Catholic+Parish/@0.3828531,33.1500443,261m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x177e792c33530bc1:0x986854fbacb4033!8m2!3d0.3827887!4d33.1510052
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC4060234
- ↑ https://www.google.com/maps/place/St+Joseph's+Seminary+Nyenga/@0.395605,33.1420085,523m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x177e79331576d41f:0x531dfda08ffa3232!8m2!3d0.3955533!4d33.143772
- ↑ https://www.google.com/maps/place/St.+Francis+Nyenga+School+of+Nursing/@0.3835166,33.1516603,155m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x177e79b1edd6d497:0x9e05bc28599ceb26!8m2!3d0.3834899!4d33.1521408
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-25. Retrieved 2024-09-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.globalhand.org/en/search/all/organisation/48058?search=microfinance
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'49.0%22N+33%C2%B009'10.0%22E/@0.3799712,33.1521439,155m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3802778!4d33.1527778