Jump to content

OKubalirira (Arithmetic)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Charles Muwanga Okubalirira (Arithmetic)

Arithmetic operations


"Okubalirira" (Arithmetic)era kiyitibwa "kibalirizo".

Obutafaanana nga aligebbula ayogeza byombi , namba n’ennyukuta, okubalirira(arithmetic) kwogeza namba na nambiso byokka. Okubalirira (arithmetic) kwetaagisa okuwa namba amannya n’obubonero. Amannya ga namba enzijuvu mu luganda gali “emu, bbiri, satu, nnya, ttaano, mukaaga, n’okweyongerayo. Amannya gano gayitibwa mannya agabala oba namba za kibazo (namba ezibala).

Obubonero bwa digito ekkumi ezizimba buli namba, omuli:  0,1,2,3,4,5,6,7,8,9  buyitibwa “nambiso”(numerals) kyokka mu kubwatuukiriza tuziyita “namba”. Okubalirira (arithmetic) kikozesa bubonero okubala. Kyetaagisa okuwa obubonero buno amannya. Erinnya ly’akabonero akabala liyitibwa “namba”. 

Amannya g’obubonero buno mu luganda gali : “zero, emu, bbiri, satu, nnya, ttaano, mukaaga, n’okweyongerayo mu entakoma. Ezo ze namba ez’enjawulo. Amannya gano gayitibwa mannya agabala oba namba za kibazo (namba ezibala).

Obubonero obukiikirira namba bulagibwa nga: "1, 2, 3, 4, 5, 6, 7” n’okweyongerayo mu ntakoma. Obubonero buno buyitibwa nambiso (numerals). Waliwo ne nambiso z’ekirooma” (Roman numerals) nga I,II,III,IV n’okweyongerayo. 'Okiraba nti mu nambiso z’ekirooma temuli kabonero ka zeero.

Zeero(0) nayo etwalibwa okuba namba enzijuvu.Erina ekinnyonnyozo(property) nti singa egattibwako namba yonna endala, namba eyo tekyuka. Ekyokulabirako 5+0 = 5.


Obutafaanana nga aligebbula ayogeza byombi , namba n’ennyukuta, okubalirira (arithmetic) kyogeza namba na nambiso byokka. Okubalirira (arithmetic) kyetaagisa okuwa namba amannya n’obubonero.

Amannya ga namba enzijuvu mu luganda gali “emu, bbiri, satu, nnya, ttaano, mukaaga, n’okweyongerayo. Amannya gano gayitibwa mannya agabala oba namba za kibazo (namba ezibala).

Obubonero bw'endagamuwendo ekkumi(ten digits) ezizimba buli namba, omuli: 0,1,2,3,4,5,6,7,8,9 buyitibwa “nambiso”(numerals) kyokka mu kubwatuukiriza tuziyita “namba”.

Ekibaririzo (arithmetic) kikozesa bubonero okubala oba okubalirira. Kyetaagisa okuwa obubonero buno amannya. Erinnya ly’akabonero akabala liyitibwa “namba”.

Amannya g’obubonero buno mu luganda gali : “zero, emu, bbiri, satu, nnya, ttaano, mukaaga, n’okweyongerayo mu entakoma. Ezo ze namba ez’enjawulo. Amannya gano gayitibwa mannya agabala oba namba za kibazo (namba ezibala).

Obubonero obukiikirira namba bulagibwa nga: "1, 2, 3, 4, 5, 6, 7” n’okweyongerayo mu ntakoma. Obubonero buno buyitibwa nambiso (numerals). Waliwo ne nambiso z’ekirooma” (Roman numerals) nga I,II,III,IV n’okweyongerayo. 'Okiraba nti mu nambiso z’ekirooma temuli kabonero ka zeero.

Zeero(0) nayo etwalibwa okuba namba enzijuvu.Erina ekinnyonnyozo(property) nti singa egattibwako namba yonna endala, namba eyo tekyuka. Ekyokulabirako 5+0 = 5.

Omuntu atandika sessomo ly’ekibalangulo alina kusookera ku kuyiga:

o Okubala, okusoma, n’okuwandiika namba enzijuvu okutandika n’ezisooka ekkumi, n’azzaako ekikumi, nadda ku lukumi,n’okweyongerayo.

o Okunokoolayo omuwendo gw’ekifo(place value) buli digito ya namba mweri.

o Waliwo akakwate akali wakati wa namba, obungi,n’omuwendo gw’ekifo mu namba enzijuvu okutuuka ku lukumi.

o Waliwo enkozesa y’omulamwa gw’ensuusuuba n’amakumi mu nsengekera ya namba ey’omuwendo gw’ekifo.

o Bw’ova awo n’oyiga omuwendo gw’ekifo buli digito w’eri okutuuka ku mutwaalo.

o Okuva awo alina okumanya omuwendo gw’ekifo ogwa namba enzijuvu awamu n’ogw’emitonnyeze (decimals) egirina ebifo by’emitonnyeze (decimals places) ebibiri awamu n’engeri namba enzijuvu n’ebigana gye zikwataganamu n’emikutule (fractions).

o Bw’ova kw’ekyo aba alina okuyiga okusoma n’okuwandiika namba enzijuvu eziri mu bukadde.

o Okusengeka n’okugeraageranya namba enzijuvu n’emitonnyeze okutuuuka ku bifo by’emitonyeze bibiri.

o Okuzingirako namba (rounding off numbers) enzijuvu ku kumi, ku kikumi, lukumi, mutwalo, kakadde, kawumbi okutuuka ku butabalika (the nearest ten, hundred, thousand, ten thousand, or hundred thousand).

o Okusengeka ennamba (0rdering numbers)

o Enziringanya y’ennamba (Number sequencing)


Okuyiga bino kisobozesa omuntu atandika ekibalangulo okugenda mu maaso:


(i) Okuyiga okubala obungi bw’ebintu.

(ii) Okuyiga okugatta n’okwawuza.Kino balina okukikola n’okwegezaaamu kungi okutuuka nga buli muwendo bagukuba budinda.

(iii) Okwegezaamu n’okubala mu bibinja n’enkubiso z’ebibinja (multiples of groups). Eky’okulabirako okubala ebintu ne 5, 10, 15, n’okweyongerayo

(iv) Okubalanguza okuyita mu kukozesa emisimbalaala (columns) naddala ng’oyagala okugatta oba okwawuza namba ennene ezirina digito eziwera.Wano tulina okukozesa obumanyirivu bw’emiwendo gy’ekifo kya buli digito. Ojja kukizuula nti bwe twogera obwogezi namba tubuuka emiwendo gy’ebifo (place values) ebiba bitakiikiriddwa namba, gamba, mu namba nga 4, 006; eno esomwa nga enkumi nnya mu lukaaga. Bwe tuwandiika awatali digito ekifo tukiteekamu ziro (0).