OMULIMI N’OMULUNZI
--OMULIMI N’OMULUNZI==CROPS FARMER AND LIVESTOCK FARMER Omulimi era ye mulunzi, n’olwekyo omulimi ateekwa okubeera n’ekisolo oba n’ebisolo by'alabirira, olw'okufunako ebigimusa nga obusa, omusulo n’ebirala by'ateeka mu nnimiro ze ez’enva oba mu lusuku n'awalala asobole okuzza obuggya ettaka ly'alimirako. ‘’’Ebimu ku bisolo omulimi by'asobola okubeera nabyo’’’ Embizzi, endiga, enkoko, obumyu, ente, embuzi, ebyennyanja, sekkoko, embaata nebirala bingi. ‘’’Emiti gy'ebibala n’enva endiirwa’’’ Omulimi ateekwa okusimba emiti gy’ebibala n’enva endiirwa, nga bino bituyamba okwewala endwadde era n'okwongera okugaziya obwongo mu by'okuyiga, naddala abaana baffe, era n'okwongera ku maanyi g’obutonde mu nkula ey'ekitonde ekisajja. Enva endiirwa n’ebibala bikulu nnyo ku buli kijjulo ky’omulimi. Enva endiirwa tezisaana kusiikibwa na muzigo oba samuli yenna, wabula kugerekebwa.
<ref:wwf/lvceep>
--Joyce Nanjobe Kawooya (talk) 07:32, 24 Gwamusanvu 2015 (UTC)