Okukkiriza Kunihira

Bisangiddwa ku Wikipedia

Dr. Faith Kunihira Philo, amanyiddwa nga Faith Kunihra, ye mubaka omukyala akiikirira ekitundu ky'e Kyenjojo mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu ng'akiikirira ekibiina kya National Resistance Movement (NRM).

Ebyafaayo n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Faith Kunihira yazaalibwa ku kyalo Ntutu, eggombolola ya Nantungo mu disitulikiti ya Kyenjojo awo nga mu mwaka gwa 1970. Kunihira yasomera ku Kayihura Primary School mu pulayimale ne Madox Secondary School mu sekendule. Kunihira alina diguli mu by'obusuubuzi okuva mu Institute of Computer Management mu Bungereza. Alina ne Masters degree in Business Administration okuva mu Roehampton University, UK. Faith Kunihira yaweebwa diguli ey'okusatu mu Humanities okuva mu Lead Impact University mu Amerika.

Emirimu gy'akoze[kyusa | edit source]

Faith Kunihira ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y'e Kyenjojo mu paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu. Faith Kunihira ali ku kakiiko akakola ku nsonga z'obwapulezidenti mu paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu. Mu ntebe y'omubaka omukyala akiikirira disitulikiti ya Kyenjojo, Faith Kunihira eyajjira mu NRM yamegga Baguma Spellanza Muhenda eyajjira ku bwannamunigina, Kemigisa Rose eyajjira mu kibiina kya Forum for Democratic Change ne Timbigamba Lyndah nga naye yali ku bwannamunigina. Kunihira ye yatandikawo era ye dayirekita ow'oku ntikko owa Bringing Hope Family, Uganda okuva mu Gwokusatu 2023. Kunihira era yatandikawo essomero lya Masterseed Primary School e Jinja, Uganda. Kunihira Faith yakolako ng'omubalirizi w'ebitabo ku Shell Jinja nga tannagenda ku Uganda Grain Milling Company ng'amyuka omubalirizi w'ebitabo nga tannagenda ku Source Café okukola nga dayirekita, gye yava oluvannyuma ne yeesogga ebyobufuzi.[1]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0