Okulima ebitooke ebyomulembe

Bisangiddwa ku Wikipedia

OKULIMA EBITOOKE EBYOMULEMBE[kyusa | edit source]

Ebitooke byebimera ebivaako emmere eya amatooke. Kino kyekika kyemmere ekikyasinze okuganja wano mu Buganda.

Bino wammaanga byebimu ku bika bye bitooke; Kibuzi, Kisansa, Mpologoma, Nakitembe, Nakinyuka Nakabululu Bogoya, Emodde, Gonja, nebirala.

Omuntu yandisanye abirime bwati; Longoosa bulungi wooyagala okusimba olusuku lwo naye nandilowozeza nto totegeka wagimu nnyo olw'ensonga nti olusuku lulina okulisiibwa. Ssima ebinnya ebigazi obulungi ate wansi kyandibadde kyamagezi okutuuka ku ttaka erimyufu. Teekamu obusa obukaze obulungi oba nakavundiira awooze obulungi. Bwomala noonya endu ezitaliiliddwa biwuka oba zirongose bulungi ozinnyike mu ddagala nga to nazisimba mu ttaka. Zisimbe naye ekinya to kijuza ttaka lekawo ekiiko amazzi wegasobola okuleggama era bwomala obike nebisubi.