Okutabula emmere y'embizzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

OKUTABULA EMMERE Y’EMBIZZI Mu kulunda embizzi, ng’olina ekigendererwa ekyokufunamu ensimbi, kikulu nnyo okuliisa embizzi emmere erimu ebiriisa. Dr. Emma Naluyima, omusawo w’ebisolo omutendeke ate nga mulunzi wa mbizzi kayingo abeera e Bwerenga ku Luguudo lwe Entebbe, bino bye bipimo byawa ebirina okugobererwa ng’otabula emmere y’embizzi: Mu kilo kikumi eza cacu, tabulamu bino wammanga:

  1. Mukene……………….Kilo 10 okutuuka ku kilo 12
  2. Ensigo za pamba………Kilo 8
  3. Omunnyo ……………….Kilo bbiri n’ekitundu
  4. Obusonko…………………Kilo 5
  5. Pulimisi……………………..Kwota ya kilo

Byonna nga biwedde , oba olina kilo 125.75 awamu. Mu ebyo waggulu, osobola okwongeramu ekiriisa ekya VIPRO nga kino kiyamba embizzi okusaka omubiri amangu,okukola olususu ate n’okusala amangu mu nkazi. Kale nno gw’omulunzi w’embizzi, nkwagaliza obulunzi obulunzi.