Okuwandiika Baguma Muhenda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Spellanza Baguma Muhenda yazzalibwa 30,1978 nga mubaka mu lukiiko lw'eggwanga olukulu.

Ye mubaka omukyala owa disitulikiti eye Kyenjojo mu kitundu ky'e Tooro mu bugwanjuba bwa Uganda ng'ali mu kibiina ekya National Resistance Movement (NRM).

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Spellanza Baguma Muhenda yazaalibwa 30 Ogwekkumi 1978 mu maka amakatuliki. Yamaliriza Uganda Certificate of Education okuva mu Kyebambe Girls S.S. mu 1996. Yasigala mu Kyebamba Girls S.S gye yamaliriza Uganda Advanced Certificate of education mu 1998. Oluvannyuma yagenda ku Makerere University mu 2002 gye yafunira diguli esooka mu by'enjigiriza. Yeyongerayo n'emisomo gye mu Law Development Centre, Kampala gye yafuna Satfikeeti mu by'amateeka(Administrative Officers Law Course) mu 2006. Era mu 2008, yafuna dipulooma mu Public Administration and Management okuva mu Uganda Management Institute.

Emirimu[kyusa | edit source]

Okuva mu 2000 okutuuka mu 2002, Spellanza Baguma Muhenda yali mutendesi mu Ruwoda. Yafuuka omukulembeze w'enteekateeka y'ekibiina ky'abavubuka Engabu za Tooro okuva mu 2002 - 2003. Era yali Senkulu wa Protect the Children-Kyenjojo okuva mu 2004 okutuuka mu 2006. Yafuuka kansala wa gavumenti ey'ebitundu eya disitulikti eye Kyenjojo okuva mu 2002 okutuuka mu 2006. Yali omuwandiisi wa disitulikiti owa National Resistance Movement mu 2006. Mu gavumenti y'ebitundu eye Kyenjojo mu 2006-2010, Baguma yali muyambi w'omuwandiisi omukulu. Era yali omuyambi omukulu owa gavumenti y'ebitundu eya Kyegegwa okuva mu 2010 okutuuka mu 2015. Yafuuka omukiise wa palamenti mu palamenti ya Uganda mu 2016 n'okutuusa kati.

Era ali ku kakiiko akavunaanyizibwa ku gavumenti ez'ebitundu era ali ku kakiiko aka Public Service and Local Government. Yali amyuuka omukulembeze w'akakiiko ak'eby'obulamu ku lukiiko lw'eggwanga olw'omulundi ogw'ekkumi mu Uganda era nga y'omu ku banaggwano kunsonga ez'eby'obulamu.

Ye ssentebe w'ekibiina kya Network for African Women Ministers and Parliamentarians mu kiseera kino (NAWMP).

yeyaleeta ekiteeso ekisaba gavumenti okussa munkola ezinayamba okukyuusa obulamu bw'abantu. Abadde musaale kunkola y'emirimu ey'abasawo. Yetabye nyo mukutereza ebyensoma okulaba nga bitereera. yeetaba mukuteekawo yinsuwa ey'eby'obulamu.

Laba era[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]