Olive Kazaarwe Mukwaya
Olive Kazaarwe Mukwaya (eyali Olive Kazaarwe), Munnayuganda ow'ebyamateeka era omulamuzi, aweereza nga Commission Secretary w'ensonga za Pulezidenti eza Commission of Inquiry into Land Matters mu Uganda, eyatandikibwaawo Pulezidenti Yoweri Museveni mu Gwekkuminoogumu 2016.[1] Nga yakalondebwa mu commission eno, yaweereza nga Registrar, mu Division ye by'enteekateeka n'enkulaakulana ebya Judiciary of Uganda. Eyo yalabaalaba okuteeka munkola okwa puloojekitti eya multi-million dollar "Good Governance Project", eyateekebwaamu sente okuva mu DANIDA, eri Gaavumenti ya Uganda.[2]
Ebimukwatako n'emisomo
[kyusa | edit source]Yatikibwa okuva mu Faculty y'amateeka eya Yunivasitte y'e Makerere, Yunivasitte ya Gavumenti ya Uganda esinga obunene n'obukulu, ne Diguli y'e by'Amateeka, mu kuteebereza kw'omwaaka gwa 1997. Omwaaka ogwaddako, yatikibwa Dipulooma mu Legal Practice okuva mu Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Alina ne Dipulooma mu Public Administration, gye yajja mu ttendekero lya Uganda Management Institute, nayo esangibwa mu Kampala.[2]
Oluvanyuma lw'okuyingizibwa mu Uganda Bar mu 1999, yafuna omulimu ne Law firm ya Ruyondo & Company Advocates, nakola eyo okumala omwaaka gumu, nga Associate Attorney. Mu 2000, yalondebwa nga Grade One Magistrate, naweereza mu buyinza obwo okutuusa 2004. Yalinyisibwa eddaala okutuuka ku Senior Grade One Magistrate, naweerezayo okumala emyaaka ena, okuva mu 2004 okutuusa mu 2008.[2]
Mu 2009, yava ku ntebe nagenda okukola nga omumyuuka owokulusegere owa eyali Omumyuuka wa Chief Justice Laetitia Mukasa Kikonyogo, okumala omwaaka gumu. Mu 2010, yalinyisibwa eddaala ku bwa Chief Magistrate. Yaweereza mu busobozi obwo mu Hoima Court Circuit era ne Buganda Road Courts mu Kampala, okumala emyaaka ena. Mu 2014, yasindikibwa mu Inspectorate of Courts Division, nga omumyuuka wa Registrar, nakolerayo akabanga katono nga tanatwaala mulimu ku puloojekitti DANIDA gye yateekamu ensimbi.[2]Kati Mulamuzi ku Kkooti ya Land Division eya High Court
Commission of inquiry
[kyusa | edit source]Nga 8 Ogwekkuminoogumu 2016, Pulezidenti Yoweri Museveni yalonda seven-person Commission of Inquiry mu mateeka gakaakati ekyakyuusa mu nfuna, okuwandiisa, okukwasanganya, enkozesa n'okutunda ettaka mu Uganda. Yalonda Justice Catherine Bamugemereire nga sentebe wa commission ne Olive Kazaarwe Mukwaya nga omuwandiisi. Commission yalayirizibwa Ku Lwokubbiri 21 Ogwokubbiri 2017.[3] "Uganda Land Commission of Inquiry" yatandika okuwulira emisango gyaayo mu Gwokuttaano May 2017, ne alipoota yaayo eyenkomerero nga esuubirwa mu mweezi Ogusooka 2018, emyeezi mukaaga oluvanyuma lw'omusango gwaayo ogusooka.[1]
Ebirala
[kyusa | edit source]Ms Kazaarwe External Examiner ku Law Development Centre. Muwandiisi w'ekibiina ky'abakyaala abalamuzi mu Uganda ekya National Association of Women Judges of Uganda, ekibiina ky'abakungu.[2] Nga 7 Ogwokubbiri 2018, Pulezidenti Yoweri Museveni yalonda Olive Kazaarwe mu High Court of Uganda, nga alindirira kukiriza kwa Paalamenti.[4]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 http://www.monitor.co.ug/News/National/Commission-of-inquiry-into-land-matters-finally-begins-work/688334-3910986-14pnhc3/index.html
- ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 https://web.archive.org/web/20171107015346/http://gcic.gou.go.ug/profiles-members-land-inquiry-commission/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1446802/land-inquiry-team-sworn
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-14-new-judges/688334-4296748-plu1x2z/index.html