Olugave
Olugave kyekimu ku bitonde eby'omunsiko mu ggwanga Uganda. Kino era muziro eri ekimu ku bika bya Baganda ekiyitibwa eky'olugave. [1][2] Olugave lulimu ebika eby'enjawulo era nga ebimu bisangibwa ku lukalu lwa Asia, ate ebirala byo nebisangibwa mu mawanga agali mu bukiikaddyo bw'eddungu Sahara ku lukalu lw'omuddugavu Afirika. [3] Mu ntondebwa n'enkula y'olugave luteera kubeera mu kigero yinsi 11.811 ze cm30 okutuukira ddala ku cm 100 oba yinsi 39.3701.
Olugave luba nebikalakampa nga byebibika olususu lwabyo nga enviiri bwezibika olususu ku mutwe gw'omuntu.Ebikalakampa ebibika olususu lw'olugave lbyanjawulo kuba byatondebwa mu kirungo kyekimu n'ekyo omwatondebwa enjala z'engalo n'ebigere eby'omuntu. Kino kyekitonde kyokka ekimanyiddwa okuba n'olususu olw'ekikula kino ku ebyo ebiwangaalira ku ttale oba ku lukalu. Ebikalakampa bino biba bikalubu era nga bigulumivu ddala okusobola okuwa obukuumi olususu. Kyokka mu lugave oluto biba bigonvu era bigenda bikaluba okutandika ku nnaku bbiri nebigenda nga biguma nga olugave bwelukula .[4]
Olugave okusinga lubeera nnyo mu mikwesese nemu biseguusi kyokka waliwo n'ebika by'olugave ebiwalampa emiti era nga okusinga lutambula kiro okunoonya eby'okulya era nga emmere y'olugave bibeera biwuka nga enswa, enkuyege n'ebirala ebigwa mu ttuluba eryo era nga olugave okufuna emmere lusooka kujikonga lusu oba okujiwunyiriza lukozesa olulimi lwalwo oluwanvu ddala. okutwaliza awamu olugave ssi kitonde ekitambulira mu bibinja era kitera kutambula bwa nnamunigina era nga okuzisangiriza mu kibinja mpozi nga zisisinkanye mu 'ggobe' oba okwegatta okusobola okuzaala.Olugave luzaala abaana wakati w'omu ku basatu mu luzaala lumu era nga obwana obuzaalwa bukuzibwa abazadde okutuuka ku myaka ebiri okufuuka obwetongodde era obukuze.[5]
Olugave era kyekimu ku bitonde ebisinga okuyiganyizibwa era ebiri ku kalebwerebwe k'okusaanawo. Olugave luyigibwa nnyo olw'ennyama yaalwo nebigalagamba oba olususu lwalwo olukozesebwa mu bintu ebyenjawulo nga okukola eddaga ly'ekinnansi era nga munda mu ggwanga Uganda abasinga okuyiga olugave bayina obutale bwamanyi wabweru weggwanga era nga ne kuddala ly'ensi yonna olugave luli ku lukalala lwebisolo ebyo ebiri mu katyabaga akamaanyi[6]
Okwekuuma eri abayiganya olugave mukama yaluwa Omubiri gwa pangolin oguliko ebikalakampa ebiringa ebikuta ku muti gwa payini ekizibuwaza okulukwata kuba olususu luno lusala. Olugave bwelwekengera obulabe lusobola okwezinga mu ngeri olufananya nga omupiira nga olwo amagalagamba galwo negayimirira okukola nga engabo nga feesi yalwo lujitadde wansi w'omukira gwalwo era nga mu kukola kino omuganda yakitaputa nga ekikolwa ekyoleka ensonyi olw'okuba luba lukweese obwenyi. [7]
Olugave era mu kwekuuma lusobola okufulumya omuka oguwunya obubi ennyo ekireteera oyo aba alulumbye okwesega ekivundu ekiba kiruvaamu. [8]
- ↑ https://buganda.or.ug/clan/lugave-clan/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Lugave_Clan
- ↑ Gaudin, Timothy (28 August 2009). "The Phylogeny of Living and Extinct Pangolins (Mammalia, Pholidota) and Associated Taxa: A Morphology Based Analysis" (PDF). Journal of Mammalian Evolution. Heidelberg, Germany: Springer Science+Business Media. 16 (4): 235–305. doi:10.1007/s10914-009-9119-9. S2CID 1773698. Archived from the original (PDF) on 25 September 2015. Retrieved 14 May 2015.
- ↑ https://www.nationalgeographic.com/animals/mammals/facts/pangolins
- ↑ https://www.savepangolins.org/what-is-a-pangolin
- ↑ https://www.ifaw.org/international/animals/pangolins
- ↑ Wang, Bin; Yang, Wen; Sherman, Vincent R.; Meyers, Marc A. (2016). "Pangolin armor: Overlapping, structure, and mechanical properties of the keratinous scales". Acta Biomaterialia. Oxfordshire, England: Elsevier. 41: 60–74. doi:10.1016/j.actbio.2016.05.028. PMID 27221793.
- ↑ "Meet the Pangolin!". Pangolins.org. 2015. Archived from the original on 22 February 2015.