Olukiiko olw'Enkyukakyuka mu Bufuzi bwa demokulasiya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox political party   Forum for Democratic Change mu luswahili: Jukwaa la Mabadiliko ya Kidemokrasia; FDC yatandikibwawo mu mwezi ogw'ekumineebiri nga 16 mu 2004, nga kyekibiina ekisinga okuvuganya mu Uganda.[1]FDC yatandikibwawo ng'ekibiina ekigata abantu ekiyitibwa Reform Agenda, nadala abaayisibwamu amaso nga baali bagoberezi ba pulezidenti ba kibiina kya pulezidenti Yoweri Museveni ekya National Resistance Movement (NRM). Pulezidenti w'ekibiina Kizza Besigye, eyali munywanyi nnyo wa Museveni, yeesimbawo ku bwa pulezidenti mu 2001, 2006, 2011 ne 2016.Mu mwezi gw'ekuminoogumu mu 2012, Mugisha Muntu yalondebwa ku bwa pulezidenti wa FDC okutuusa omwezi ogw'ekuminoogumu mu 2017 bweyawangulwa Patrick Oboi Amuriat aliko kati nga pulezidenti w'ekibiina kino n'okutuuka kati.2022.[2]

FDC ebadde emu kubibiina ebisinze okuvuganya NRM mu 2006, 2011, ne 2016 ku bwa pulezidenti n'ebifo mu palamenti ku ky'obukiise. Besigye yeeyali pulezidenti w'ekibiina kino nga yafuna obululu 37 ku 100 ng'avuganya Museveni eyafuna 59 ku 100. Besigye yalumiriza obufere n'obubi bw'obululu era n'agaana ebyaava mu kulonda kuno.

Mukulonda kwa bonna nga 23 mu mwezi ogw'okubiri mu 2006, ekibiina kyawangula ebifo 37 ku 289. Mukulonda kw'obwa pulezidenti okwaliwo mu naku z'omwezi, Besigye yawangula obululu 37.4 ku 100. Mukulonda kwa 2011, ekibiina kyakola bubi nga Besigye yafuna obululu 26.01 ku 100, ekibiina nekiwangula ebifo 34.

Ebikikwatako[kyusa | edit source]

Obuvo bwa FDC butandika n'ebyafaayo by'obufuzi bwa NRM ng'ekulemberwa pulezidenti Museveni. NRM ng'eyita mu maggye ga National Resistance Army (NRA) agaalwaana olutali lw'obuyeekera nga gaagala okugyako gavumenti ya Milton Obote ne Tito Okello nga oluvannyuma gajja mu buyinza mu Uganda mu1986. Mu lutalo lw'obuyeekera, Museveni yatondawo ebbibinja byeyafuula amaggye, nga bweyawangula obuyinza, yatandika okuzimba NRM okugifuula ekitongole ky'eby'obufuzi eky'amaanyi. Enkyuka kyuka eno yalaga okwagala kwa NRM okugaziya omusingi gwayo ogw'obufuzi nekiraga n'ebirubirirwa munda mu kibiina n'abamu kubaakitandikawo okuibeera nga baali baakugubwaawo batekebwe ebali.

Museveni baamwesigamako nnyo ku by'okuwagira abatuutsi abanoonyi boobubuddamu n'abazukulu baabwe abaali baawalirizibwa aba Hutu okuva mu Rwanda ng'abasinga kyaliwo mu myaka gya 1960. Mu lutalo lw'obuyekera, NRA yava mu disitulikiti y'omumasekati lwa Luwero ng'ogenda mu bugwanjubwa bw'eggwanga ng'eno abaTuutsi abasinga gyebaali babatutte. Oluvannyuma lw'okufuna obuyinza, abatuutsi nga Paul Kagame ne Fred Gisa Rwigyema eby'amaanyi mu maggye ne mugavumenti.

Engeri NRA gyeyali egenda mu maaso mu Kampala yali yayiriyiri nga mu mitendera gino, abantu abawerako baatekebwa mu kibinja kya NRA. Abasinga kubano baava mu ggwanga ly'erimu nga Museveni ery'Abanyankole n'amawanga amalala okuva mu bugwanjuba ng'Abatoro. Aba NRA webeeyongera okudda mu Buganda nga bayita mu Masaka, ensengeka zaabwe zaayongerwako abaganda abaali baasengula okuva mu bitundu bya Buganda okwegata ku bayeekera. Abasinga kubano ekirubirirwa ky'okugoba gavumenti eyali ejjuddemu abantu abava mu bukiika ddyo bw'eggwanga. Waliwo n'abaakozesa akakisa kano ak'okukozesa NRA okuwangulira Buganda ekirubirirwa ky'okufuna gavumenti eyeetwala.

Enjawukana mu NRM[kyusa | edit source]

Enkulakulana endala enungi yali nti abaaleetebwa mu NRA baali bajaasi nga bato abaali batya n'okuwa Museveni ekitiibwa. Kino tekyagenda bulungi n'abakulu ba NRA.

"Yali mugezi nti yaleeta abaana abato abatalina bumannyirivu; abaali basobola okumuwa ekitiibwa.Abasinga kubano baali baakava ku yunivasite, nga n'abasinga baali tebagenda ngako ku masomero".[1]

Akabinja k'abantu abaali batendekebwa olw'ensonga ey'esimba baali bato nga basomyeko nebatandika okufuna enkizo mu NRM. Bangi baali begase ku lutalo luno nga lunatera okukomekerezebwa oba beegata ku NRM nga batendekeddwa olw'ensonga ey'esimba oluvannyuma lw'olutalo. Obutakwatagana buno bwali bwa bigambo oba bwa kwogera naye nga buli mubukambwe.

"Abantu bangi batuyisizaamu amaaso, nga batuyita abaana abato abakula nga beekute ku Museveni".

Akabinja k'abantu abaali batendekebwa olw'ensonga ey'esimba n'abanoonyi n'abatuutsi abanoonya obubuddamu batandikawo NRM wesinziira nga w'amaanyi, ng'ekibiina kyatandika okulabika ng'ekyamawanga. Eby'obufuzi bya Uganda byali bijudde enjawukana mu mawanga, ng'akabinja k'abantu abaali batendekebwa olw'ensonga ey'esimba abaali abato, ng'enkizo empya gyebaali baakubiriza ng'okuleetebwa kwab'enganda zaabwe mu bifo bya gavumenti eby'amaanyi.Abasinga ku bakabinja k'abantu abaali batendekebwa olw'ensonga ey'esimba baali bava mu bukiika kono bwabugwanjuba bwa Uganda nga Museveni.

Omusingi ogw'amaanyi gwebaali basibukako gwatandika okunafuwa, abatuutsi abanoonya obubudamu nga bakulemberwa Fred Rwigema baasalawo okuddayo e Rwanda okulwanyisa gavumenti ya Habyarimana. Okufiirwa banamaggye abamaanyi n'abawabuzi ab'eby'obufuzi nadala mu bakozi by'obwambega kyaleka Museveni ng'ali mu bwetaavu. NRM yakimannya nti yalino okugaziya okusaba kwayo nga mukisooka baalina okusanyusa Abaganda eggwanga ly'abantu erisinga mu Uganda nga bakomyawo Kabaka, n'okuleeta abantu okuva mu mawanga amalala nga babayingiza mu bitongole by'eby'okwerinda. NRM yakatiriza omulimu gwayo ogw'okutereeza amateeka n'obutebenkevu mu ggwanga nga batekawo okutya mu mawanga g'omubukiika kono amaggye g'omubukkiika ddyo aga Obote ne Idi Amin gaali gakukomawo singa NRM yamelererwa. Okutya kuno kwaletebwawo olutalo olwali mu bujkiika ddyo olwalimu ekibinja kya Lords Resistance Army. NRM yalina obuyinza eri enkulakulana mu by'enfuna mu bukiika kono bwa Uganda.

Obuvumu obupya bweyalina, Museveni yatandika okukola ku buli yali awakanya obuyinza bwe mu NRM. Abasinga ku bano baali ba memba abaasooka mu NRM/NRA, nga mwemuli omuduumizi w'amaggye Major General Mugisha Muntu n'abakulmebezze ba NRM abalala ab'amaanyi. Abasinga ku bakulmebezze bano baali baagala bawumulire mu mirembe mu disitulikiti gyebabazaala, naye abalala nga Mugisha Muntu n'eyali omwogezi wa NRM Winnie Byanyima, baatandika okuwakanya Museveni. Wabula waaliwo okunyumirwa okutonotono okumenyawo NRM, si kukubiriza kyuka kyuka okuva munda.[2]

Kino kyakyusa mu kulonda kw'obwa puleidenti mu 2001 Besigye eyali munamaggye eyawumula bweyavuganya Museveni ku bwa pulezidenti. Besigye yali tamannyikiddwa mu badukanya NRM/NRA[2], naye obuvumu bweyayolesa mu kwesimbawo kyasikiriza nnyo obuwagizi.

Okutondawo Olukiiko olw'Enkyukakyuka mu Bufuzi bwa demokulasiya[kyusa | edit source]

FDC yatondebwawo mu butongole mu 2004. Besigye yali agenze mu Amerika mubuwanganguse gyeyava n'agenda mu South Afrika. Etandikwa y'ekibiina kino yali mu Uganda ng'abaali ba memba ba NRM nebagobwa baali basaale nnyo mu kutandikwa ekibiina kino okuvuganya Museveni. Ekirubirirwa baakyongeramu amaanyi Museveni bweyakola eteeka eryali limukiriza okuyimirirawo ekisaja eky'okusatu ku bwa pulezidenti.Kino kyanyiiza banazirwanako abaali mu NRM nebasigalamu mu NRM nga balindirira okutwala obuyinza singa Museveni anyuka ku ky'obukulmebezze. Enkyuka kyuka yavumirirwa nnyo abamu ku baali ku ludda lwa Museveni nga Eriya Kategaya nga mu kaseera ako yali alabibwa nga namba biri munsengeka za NRM/NRA . Okuvuganya kuno tekwataganya Museveni eyali yeenywezezza mu NRM.

FDC yafunamu nnyo mulusirika luno, nga Besigye bweyakomawo mu Uganda, yakizuula nti FDC yalina obuwagizi obutagambibwa obwali ne munsengeka za NRM. Ensonga eno yawaliriza Museveni okukwata Besigye. Wadde nga kyaali kyali kibusibwa nti Besigye anaawangula okulonda kuno ng'avuganya Museveni, ensonga lwaki yali asikiriza obuwagizi bungi okuva mu NRA kati gyebayita Uganda People's Defence Force nga bamemba baalina ekiroowozo ekireetamu ky'okwawulamu amaggye. FDC yalina abaduumizi abaava mu maggye ga NRA bangi nga mwemuli ne Mugisha Muntu eyali omuduumizi w'amaggye. Ensoga endala yali nti banabyabufuzi abasinga baali bava mu bitundu byebimu ebya Uganda nga Museveni nga wano webaali basobola okusikiriza obuwagizi okuva mu bantu ba pulezidenti yennyini.

Okukwatibwa kwa Besigye kyali nsobi y'eby'obyfuzu eyaviirako FDC okwongera okufuna obumannyifu. Wabula ekibiina kyatandika okuboonaboona olw'obuwanguzi bwekyali kifunye. Abamannyifu abasinga baali ba memba ba NRMwabula baali bagayaavu okuvaayo okuwakanya Museveni. Banabyabufuzi nga Eriya Kategaya, eyali omukulmebezze wa FDC, baali batya omumutuukirira. Kiremya omulala yali nti gavumenti yateekawo amateeka agatategerekeka ku Besigye okumulemesa okutekega enkungaana z'eby'obulonzi. FDC yali emannyikiddwa nnyo mu bitundu by'omubibuga nadala ekibuga ekikulu ekya Kampala, naye ng'obudde obutuno obw'okukola enkungaana mu byalo bwaali ebitundu 70 ku 100 mu bantu abakyali abalamu. NRM, ku mukono omulala yamala amaanyi mangi, ng'ekuba enkungaana enene mu bitundu by'omubyalo ne mububuga obutono.

FDC ne Besigye baali batutumu mu bukiika ddyo abantu gyebaali bamazze ebanga lya myaka 20 nga bali mu kuboonaboona olw'olutalo olwali wakati wa gavumenti n'abayekera ba Lord's Resistance Army. Eno yeyali ensaonga lwaki FDC yali tesobola kukubayo nkungaana z'abyabufuzi mu bitundu ebyo. KIno kyali kiragira ddala okunyigirizibwa abantu kwebaali bayitamu mu bukiika ddyo bwa Uganda abaali bawulira nti baali balakeddwa ebweru gavumenti mu Kampala.

Wadde nga waliwo kiremya ono yenna FDC ya wangula 30 ku 100 ku bululu, ekyali eky'obuwanguzi ennyo eri ekibiina kino ekyali tekinaba nakuweza. Ekibiina kyasikiriza ebibiina byonna ebibiina binansaangwa ebyali bivuganya nga Uganda People's Congress n'ekya Democratic Party.

Obutasenvula[kyusa | edit source]

  Mu 2011, FDC neera yakulembera abaali bavuganya Museveni ne NRM mu kulonda k'obwa pulezidenti ne mu bifo by'okukiika mu palamenti . Ekibiina neera kyalemererwa okugyawo obututuufu bwa Museveni. FDC yakola bubi nnyo mu 2006. Okuva mu kulonda kwa 2011, ekibiina kibadde kisaale nnyo mukutegeka obwegugungo kunguudo n'okwekalakaasa he nga n'ezimu zivuddemu okugugulana ne poliisi .

Okutondawo gavumenti y'abantu[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okulonda kwa 2016 , eyali akutte bendera ya FDC Dr. Kizza Besigye yawakanya ebyali bivudde mu kulonda ebyafulumizibwa abavunaanyizibwa ku by'okulonda mu Uganda 'Electoral Commission'. Kino kyaliwo oluvannyuma lw'okubeera nga yali akwatibwa ewaka okumala emyezi esatu, nga yali agenda na kwerayiza nga pulezidenti w'abantu ba Uganda mu kifo eky'ekyaama. Yagenda mu maaso n'okutondawo gavumenti y'abantu eyalina cabinet n'abakulmebezze ba disitulikiti.[3] Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago yalondebwa ng'omumyuka wa pulezidenti, n'abakulembezze b'eby'obufuzi abawerako baalondebwa ng'era bakola n'okutuusa kato mu gavumenti y'abantu.

Bw'azze akola mu kulonda[kyusa | edit source]

Mu kulonda kw'obwa pulezidenti[kyusa | edit source]

Election Party candidate Votes % Result
2006 Kizza Besigye 2,592,954 37.39% Lost N
2011 2,064,963 26.01% Lost N
2016 3,508,687 35.61% Lost N
2021 Patrick Oboi Amuriat 323,536 3.24% Lost N

Okulonda kwa palamenti ya Uganda[kyusa | edit source]

Election Party leader Votes % Votes % Seats +/– Position Government
Constituency Women
2006 Kizza Besigye Template:Composition bar 37 2nd Template:No2
2011 1,070,109 13.56% 1,242,218 16.84% Template:Composition bar 3 2nd Template:No2
2016 1,027,648 12.73% 929,680 12.76% Template:Composition bar 2 2nd Template:No2
2021 Patrick Oboi Amuriat 729,347 7.30% 674,154 6,64% Template:Composition bar 4 3rd Template:No2

Ebiwandiike[kyusa | edit source]

 

  1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171103060423/http://www.refworld.org/docid/4e43d2ba2.html
  2. 2.0 2.1 2.2 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1466364/amuriat-fdc-party-president
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://nilepost.co.ug/2019/11/25/betty-nambooze-no-opposition-entity-is-as-strong-as-peoples-government-in-uganda