Jump to content

Omutima

Bisangiddwa ku Wikipedia
The Human Heart

Omutima[[1]] kitundu kya mubiri ekisangibwa mu bantu ne mu bisolo. Ekitundu ekyo kye kivunaanyizibwa ku kutambuza omusaayi. Omusaayi guyamba omubiri okufuna omukka gwa "Oxygen" wamu n'okufulumya obukyafu mu mubiri.

Mu bantu, mu bisolo ne mu binyonyi, omutima gugambibwa nti gulimu ebiwayi bina: ekitundu eky’oku kkono (upper left), eky’oku ddyo (right atria) n’ekitundu eky’oku kkono ekiyitibwa ‘’lower left ne right ventricle". Wabula ate okwawukanako, ebyenyanja byo emitima gyabyo gyawulwamu ebiwayi bibiri ate byo ebisolo ebirina ebigirigimba emitima gyabyo gyawulwamu ebiwayi bisatu. Omutima guterekebwa mu kantu akalinga akasawo akayitibwa "picardium" era omutima gukolebwa ensusu satu "Epicardium", "myocardium" ne "Endocardium".

Omusaayi ogulimu "oxygen " guba mu guyingira mu mu kitundu ky’omutima ekya ddyo ate ne guyitira mu kitundu ekya ddyo (right ventricle) .Bwe guva wano gusindikibwa mu mu misiwa ne gugenda mu mawuggwe gye guggya omukka gwe tussa. Omusaayi ogufunye Oxygen guyita ate mu kitundu ky’omutima ekirala olwo omutima ne gugusindika n’amaanyi okutambula mu bitundu by’omubiri ebirala.

Emabegako eri, Obulwadde bw’okulemererwa kw’omutima obuyitibwa, Cardiovascular[[2]] bwe bwali businga okutta abantu mu nsi yonna. Mu 2008, abantu 30% be baafa. Ebimu Ku biviirako akatyabaga kano mulimu nga okunywa sigala, Obutakola dduyiro, omugejjo, sukaali, entunnunsi n'ebirala. Obulwadde bw'omutima buaovola okujjanjabwa.