Omuzikiti gwa Uganda National Mosque
colspan="2" class="infobox-above" style="background-color:
| |
---|---|
مسجد أوغندا الوطني
| |
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
| |
Enzikiriza | Busiraamu |
Ettabi ly'Obusiraamu | Sunni Islam |
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
| |
Gye gusangibwa | Kampala, Uganda |
Gutwalibwa | Olukiiko lw'Obusiraamu olukulu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council |
Geographic coordinates | 0°18′56″N 32°34′07″E / 0.315539°N 32.568591°Ennamba zaagwo: 0°18′56″N 32°34′07″E / 0.315539°N 32.568591°E |
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
| |
Ekika ky'enzimba | Muzikiti |
Omwaka mwe gwazimbibwa | 2006 |
colspan="2" class="infobox-header" style="background-color:
| |
Obunene bwagwo | Gutuuza abantu 12,200 |
Ekifo kwe gutudde | Yiika 12(4.9 ha) |
Qubbat(Kuba) | 5 |
Omunaala | 1 |
Obuwanvu bw'omunaala | Mmita 50.5 (ze ffuuti 166) |
Ebyakozesebwa okuguzimba | Enkokoto eŋŋumu ennyo |
Omuzikiti gwa Uganda National Mosque gusangibwa ku kasozi Kampala mu kitundu kya Kampalamukadde (Old Kampala) mu Kampala, Uganda. Gwe muzikiti ogusinga obunene mu mawanga g'Obuvanjuba bwa Afrika.[1] Okunoonyereza okwakolebwa mu 2014, kwalaga nti Abasiraamu mu Uganda batwala ebitundu 14% ku bungi bwa Bannayuganda.[2] Ggwaggwa okuzimbibwa mu 2006, nga gutuuza abantu abatuuka mu 15,000 ne gwongerako abalala 1,100 mu kabanyi, Ate ku madaala kusobola okutuulako abantu abali eyo mu 3,500. Colonel Muammar Gaddafi eyali Pulezidenti wa Libya ye yazimba omuzikiti guno ng'aguwaayo ng'ekirabo eri Uganda, era ng'ekirabo eri Abasiraamu bonna mu Uganda. Uganda erina emizikiti mingi naye guno gwe gusinga obunene n'obuwanvu mu gyonna.[3]
Ebyafaayo byagwo
[kyusa | edit source]Okuzimba omuzikiti guno kwatandika mu 1972 era mu kusooka gwayitibwanga Old Kampala National Mosque. Okuguzimba kwayimirira mu 1976 ne kuddamu mu 2001.[1]
Okuguggulawo mu butongole kwaliwo mu Gwomukaaga 2007 ne gutuumibwa Gaddafi National Mosque, era gwe guliko ofiisi enkulu ey'Olukiiko olukulu olutwala Obusiraamu mu Uganda olwa Uganda Muslim Supreme Council.[4] Kyokka gwaddamu okutuumibwa "Uganda National Mosque" mu 2013 oluvannyumalw'okufa kwa Colonel Gaddafi kubanga Gavumenti ya Libya empya yali si nneetegefu kuguddaabirizanga ssinga gwali gwa kusigala mu linnya lya Gaddafi."[5]
Omunaala gw'omuzikiti guno guliko amadaala 304 g'olinnya okutuuka waggulu.[6]
Ebifaananyi by'omuzikiti guno
[kyusa | edit source]
|
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Gaddafi Mosque, Dodoma, Tanzania
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 https://www.achieveglobalsafaris.com/gaddafi-mosque/
- ↑ https://www.state.gov/reports/2019-report-on-international-religious-freedom/uganda/
- ↑ http://www.ugpulse.com/articles/daily/homepage.asp?ID=482
- ↑ http://www.ugpulse.com/uganda-news/people/kayongo-free-to-enter-gadaffi-mosque-mubajje/10902.aspx
- ↑ https://web.archive.org/web/20150621213320/http://www.observer.ug/news-headlines/25937-old-kampala-mosque-drops-gaddafi-name
- ↑ https://www.csmonitor.com/Photo-Galleries/In-Pictures/Kampala-Uganda-A-mosque-atop-the-city/(photo)/1099947
Ebijuliziddwa okuva ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]
- Gaddafi National Mosque on YouTube
- Gaddafi National Mosque, Uganda Museum.