Jump to content

Paul Lokech

Bisangiddwa ku Wikipedia
Omugenzi Paul Lokech

'Paul L’Okech (1 January 1966 – 21 August 2021) yali mujaasi mu maje ga Uganda eyali kuddaala lya Maj. Gen ate bweyafa nakuzibwa okutuuka ku ddaala lya Lieutenant General . L'Okech weyafiira yeyali omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi nga mu kiseera ekyo yali Martin Okoth Ochola . [1] Lokech nga tannaweerezebwa mu poliisi mu December wa 2020, yali abadde mu bikwekweeto ebyenjawulo mu maje ga Uganda okugeza wakati wa November 2017 ne December 2019, yali mu kikwekweeto eky'okutebenkeza eggwanga lya South Sudan, wano yayina obuvunaanyizibwa okulaba nga ebiwayi bya ba mukwata mundu n'abalwanyi abalala bigattibwa ku maje ga gavumenti okusobola okukomya okulwanagana [2] Mu maje ga Uganda L'okech yateranga okuyitibwa'lion of mogadishu' ekivvunuulwa nti 'empologoma ya Mogadishu' erinnya lino lyava ku bukugu n'obuzira L'Okech bweyayolesa mu kulwana n'abalwanyi aba Al-shabab mu Kibuga Mogadishu e Somalia mu kiseera weyabererayo.[3]

Lokech era yaliko akulira enzirukanya y'emirimu mu maje ag'omubanga mu Uganda okuva nga 11 ogwomusanvu 2019 okutuuka nga 11 ogwekuminebiri 2019. [4] [5]

Okuva mu gwekuminebiri gwa 2018 okutuuka mu July 2019, omudduumizi wa Uganda Rapid Deployment Capability Center (URDCC) mu nkambi yamaje e Jinja, mu bugwanjuba bwa Uganda. [6][7]

Nga 21 August 2021, yafuna obukosefu obwava ku kigwo kye yagwa bweyali mu maka ge e Kitikifumba mu munisipaali ya Kira , e Wakiso.[8]

Lokech yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Padermu kitundu kya Acholi mu mambuka ga Uganda, nga mu mwaka gwa 1966. [9]

Obuweereza mu maje

[kyusa | edit source]

Emirimu gye egy’amagye mulimu okuweereza mu bifo eby’enjawulo eby’obukulembeze, omuli n'okuduumira ekibinja kyamaje ga Uganda e Somalia. UPDF eno yaliyo mu nteekateeka eyakulemberwa ekibiina ekitaba amawanga ku lukalu lwa Afirika eyamanyibwa ennyo nga AMISOM ebikuuma emirembe. Eno yaliyo enfunda bbiri ezenjawulo nga yasooka kubeerayo mu 2011 okutuusa 2012 ate oluvannyuma naddayo mu 2017 okutuuka mu gwekuminebiri 2018. [10] Ono yeyaduumira ekibinja ekyomunaana wamu n'ekyomwenda ebyafulumya abalwanyi aba Al-Shabaab mu kibuga Mogadishu mu 2011. [11] [12]

Nga tannadda Somalia omulundi ogwokubiri, yaliko omudduumizi w'ekibinja kyamaje ga UPDF ekyokubiri nga enkambi yakyo esangibwa e Makenke mu Mbarara, mu bugwanjuba bwa Uganda. [13] Ono era yaliko akwasaganya ensonga z'ekijaasi ku kitebe kya Uganda mu Russia, ekisangibwa mu kibuga Moscow . [13]

Lokech era yaliko mu magye ga Uganda agakuuma emirembe mu South Sudan . kwossa n'ekikwekweto kya Operation Safe Haven (OSH),UPDF kyeyakola mu Democratic Republic of the Congo nga kigendereddwamu okusaanyawo abayeekera Allied Democratic Forces (ADF). [14]

Ebirala

[kyusa | edit source]

Mu gwokubiri gwa 2019, Pulezidenti Yoweri Museveni nga omuduumizi wamaje ow'okuntikko yasuumusa Paul Lokech okuva ku ddaala lya Brigadier n’afuulibwa Major General yadde ng amu kusooka erinnya lye telyakubwa ku lupapula okwali abo abaali bakuziddwa abasooba mu nkumi bbiri.

Obulwadde n’okufa

[kyusa | edit source]

Okusinziira ku mawulire, Lokech yamenyeka akakongovule ku kugulu okwa ddyo era najjanjabirwanga mu makage omukugu alongoosa amagumba era kigambibwa nti weyafiira yali wakusisinkana omusawo ku lunaku olwo.

okusinziira ku alipoota yabasawo eyava mu kwekebejja omulambo, ttiimu y’abakugu mu by’endwadde baazuula ebitole by'omusaayi ogwali gwetukuse negukola ebitole mu misuwa gye okutuuka mu mawugwe wkintu ekyamuviirako okufa .[15] [16]

Laba ne;

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.independent.co.ug/what-you-should-know-about-new-deputy-igp-maj-gen-paul-lokech/
  2. https://nilepost.co.ug/2019/11/18/exclusive-museveni-sends-maj-gen-lokech-on-special-assignment-in-south-sudan/
  3. https://www.independent.co.ug/gen-paul-lokech-lion-of-mogadishu-dies-at-55/
  4. https://www.softpower.ug/maj-gen-paul-lokech-appointed-as-new-updaf-chief-of-staff/
  5. https://www.pmldaily.com/news/2019/12/brig-gen-okidi-takes-over-office-of-chief-of-staff-air-force.html
  6. SoftPower Reporter (22 December 2018). "Museveni Effects New Reshuffle In UPDF". Kampala: SoftPower Uganda. Retrieved 28 March 2019.
  7. https://www.watchdoguganda.com/news/20190208/61242/commander-paul-lokech-promoted-to-major-general.html
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/blood-clot-killed-maj-gen-paul-lokech-police-confirms-3520800
  9. https://military-history.fandom.com/wiki/Paul_Lokech
  10. https://www.independent.co.ug/brig-gen-kabango-takes-charge-of-updf-in-somalia/
  11. http://amisom-au.org/2017/12/new-updf-contingent-commander-arrives-in-somalia/
  12. See: AMISOM mourns the passing of former Sector One Commander, Major General Paul Lokech, AMISOM Press Release PR/22/2021 of 21 August 2021.
  13. 13.0 13.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/Brig-Lokech-Somalia-UPDF-contingent-commander-Karemire/688334-4235978-mqejv5z/index.html
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-28. Retrieved 2024-09-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. https://observer.ug/news/headlines/70943-gen-lokech-died-of-blood-clot-police
  16. https://eagle.co.ug/2021/08/22/pathologists-confirm-blood-clot-killed-gen-lokech/