Jump to content

Pauline Byakika

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Pauline Byakika–Kibwika Mukyala munnayuganda omusawo omukugu era nga y'omu ku bakakensa abeebuzibwako ensonga mukisaawe ekyabajjanjabi kunsonga ezikwata ku Ndwadde ezirumba ebitundu by'omubiri eby'enkizo, endwadde ezibalukawo mungeri y'ebibamba, munna byanjigiriza era munoonyereza kayingo . Pulofeesa Byakika yalondeddwa era n'alangirirwa ku kifo kya amyuka akulira ssetendekero wa Mbarara University of Science and Technology .mu Agusto wa 2024 oluvannyuma lwokumegga banne abalala bwebali bavuganya ku kifo ekyo [1] . Nga tannatuka kubukulu obwo ono era mubanguzi ku ddala lya Pulofeesa mu busawo ku bbanguliro ly'abasawa erya Makerere University College of Health Sciences . Wakati w'omwaka 2017 ne 2019, Byakika yaliko omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina ekitaba abasawo mu gwanga ki Uganda Medical Association, ekimanyiddwa enyo mu Uganda olwokulwanirira awamu n'okutuusa eddoboozi lyabasawo .

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Buvanjuba bwa Uganda mu mwaka 1973. Era oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo ku mitendera egyawansi ono yeeyongerayo ku Ssettendekero Makerere, eby'obusawo n'obujanjabi.era natikkirwa diguli ya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery (MBChB) mu 1999.Ku eno yayongerezako ddiiguli eyookubiri mu by’obusawo (MMed) nga essira alisimbye ku kukujanjaba ebitundu ebyenkizo mumubiri gw'omuntu, era nga nayo yajisomera ku ssetendekero Makerere. Diguli endala eya Master of Science (MSc) mu Clinical Epidemiology and Biostatistics, so nga ate era alina diguli ey'obwakakensa (PhD) mu mu by'okutabula eddagala gye yafuna okuva mu Trinity College Dublin, mu Dublin, Ireland . Ku mutendera guno yanoonyereza ku nkolagana awamu n'enkwatagana wakati w’eddagala erijjanjaba omusuja oguleetebwa ensiri wamu n'eryo erikozesebwa okuweweeza akawuka ka mukenenya . [2]

Emirimu n'obuweereza

[kyusa | edit source]

Byakika yatandika ng’omusawo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nagenda nga akuzibwa amadaala okutuuka ku senior house officer (SHO), registrar n’oluvanyuma nafuuka kakensa eyeebuzibwako ensonga muyite consultant mu kitongole ky’Eddagala mu ddwaaliro lino.

Yadde nga yali aweereza ku ddwaaliro e mulago naye era yasigala nga musomesa ku bbanguliro lyabasoma eby'obusawo n'obujanjabi ku ssetendekero Makerere[3][4] . Era nga ne wano yajja alinya amadaala mpola okuva ku research associate, assistant lecturer, lecturer, senior lecturer, okutuuka ku ddaala associate professor, mu Agusto wa 2018. Ono era yakolako nekitongole ki Infectious Diseases Institute (IDI)[5] e Makerere ekikola okunoonyereza ku nsasaana yendwadde .

Mu 2017, Pauline Byakika, MBChB, MMed (Medicine), MSc, PhD, yalondebwa okuweereza ng’omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo mu Uganda, era obukulu buno yabumalako emyaka ebiri. era yatuulanga kuliko olufuzi olwokuntikko olwekibiina kino ekitaba abasawo mu gwanga[6].

Nga 5th August 2024, yalondebwa nga Amyuka akulira ssetendekero wa Mbarara University of Science and Technology . era nga ye mukyala eyasooka okutuuka ku bukulu buno mu ssetendekero ono[7]

Nabino bikulu

[kyusa | edit source]

Pulofeesa Byakika awandiise ku lulwe oba nga ali wamu n'abalal awandiise ebiwandiiko ebisoba mu 40 egyekenenyezeddwa era nejikakasibwa abakugu mu kisaawe kyobusawo n'obujanjabi.

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]