Jump to content

Peace Kusasira

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kusasira Peace Kanyesigye Mubiru.jpg

Peace Kusasira amanyikiddwa nga Kusasira Peace Kanyesigye Mubiru (yazaalibwa nga 27 Ogwokubiri 1962) Mukyaala Munnayuganda ow'ebyobufuzi era Social Worker.[1][2] Ye mubaka omukyaala akiikirira Disitulikitti ye Mukono mu kibiina kya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement].[1][2] Yaweereza nga mmemba wa Paalamenti ey'ekumi, ne mu y'omwenda era nawangulwa mu kalulu ka 2021–2026 elections.[3][4][5] Mu Paalamenti ey'omwenda, Peace Kusasira, yatwaala entebbe okuva ku eyali MP, Margaret Nalugo (eyagenda mu maserengeta ga Mukono era n'awangulwa Bakaluba Mukasa).[6]

Eby'emisomo

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1975, yamaliriza ebigezo bye ebya Pulayimale okuva mu somero lya Bugamba Boys Primary School.[1] Mu mwaka gwa 1980, yegatta ku Bweranyangi Girls S.S okusoma Uganda Certificate of Education.[1][6] Mu mwaka gwa 1982, yafuna Uganda Advanced Certificate of Education okuva mu St Mary's Namagunga S.S era oluvanyuma ne yegatta ku Makerere University okusoma Bachelor of Social Work and Social Administration mu mwaka gwa 1986.[1][6]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Wakati wa 1986 ne 1989, ye yali Personnel Administrator mu PAPCO Industries, Jinja.[1] Okuva mu mwaka gwa 1992 okutuusa 2000, yali akola nga Dayirekita w'abakyaala n'abavubuka ku National Organization of Trade Unions.[1][6] Okuva mu mwaka gwa 2001 okutuusa 2011, yali Dayirekita w'essomero lya Pasip Tribute Junior School.[1]

Eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa 2021, yali mmemba wa Paalamenti ya Uganda.[1]

Yaweereza mu mulimu omulala nga mmemba w'akiiko ka HIV/AIDS n'endwadde ezimufaanana era ne ku kakiiko ke by'okulima n'okulunda.[1] Atuula ku kakiiko ka UWOPA Round Table.[7]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Mufumbo eri Mubiru Kusasira n'abaana bassattu.[1][6][2] Mu biseera bye eby'eddembe awuliliza enyimba ezze diini era n'okulima n'okulunda.[1] Alina okwaagala okwamaanyi mu ku kungaanya abantu mu nsonga z'okugoba obwaavu[1]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa wa bweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.00 1.01 1.02 1.03 1.04 1.05 1.06 1.07 1.08 1.09 1.10 1.11 1.12 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=279
  2. 2.0 2.1 2.2 "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-03. Retrieved 2024-04-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.independent.co.ug/nrm-electoral-commission-chairperson-dismisses-rwampara-registrar/
  4. http://www.ugandadecides.com/aspirant.php?profile=987
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/losers-in-nrm-polls-vow-to-return-as-independents-1934442
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 https://www.observer.ug/news-headlines/12826-mukono-looks-to-new-faces
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2024-04-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)