Percy Tuhaise
Percy Night Tuhaise, munnamateeka era omulamuzi munnayuganda nga, nga 8 Ogwokubbiri 2018, yalondebwa pulezidenti Yoweri Museveni, mu kkooti ejulirwamu mu Uganda era nga eno ekola nga kkooti ya Ssemateeka y'eggwanga . Nga tannatuuka ku kifo ky'alimu kati yaweerezaako ku kkooti enkulu mu Uganda . [1]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | edit source]Yatikkirwa ku ttendekero ly'amatekka ku Makerere University, yunivasite ya gavumenti esinga obunene era esinga obukadde mu Uganda, n’afuna diguli mu mateeka, circa 1983. Omwaka ogwaddako, yaweebwa Dipuloma mu by’amateeka okuva mu kitongole kya Law Development Center, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Ono era alina diguli eyookubiri mu mateeka okuva ku Makerere University. [2]
Emirimu
[kyusa | edit source]Oluvannyuma lw’okuyingizibwa mu Uganda Bar, yaweereza mu mirimu egy’enjawulo mu mirimu gya gavumenti n’ebweru. Yali mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nnongoosereza mu mateeka mu Uganda. Mu kiseera we yalondebwa mu kkooti enkulu mu Uganda, yali amyuka omutandisi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amateeka ekya Law Development Centre, mu Kampala, era mu kiseera kye kimu yaliko omumyuka wa ssentebe w’olukiiko lwa Electricity disputes tribunal. Ku kkooti enkulu, omulamuzi Tuhaise abaddeko mu kitongole ekivunaanyizibwa ku maka ne mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bumenyi bw’amateeka mu nsi yonna. [3]
Tuhaise yeetaba mu kuvvuunula Ssemateeka wa 1995 mu lulimi Olurunyoro / Rutooro ng’alabirirwa ekitongole ekikulaakulanya amateeka ekya Law Development Centre. Yali omu ku balamuzi abawozesa emisango mu musango gwa "Muslim Clerics' Murder Trial", wakati wa 2016 ne 2017. Ye muwandiisi w’ebitabo ebiwerako, mu nkiiko ezitunuuliddwa banne. [4]
Ebirala by’olina okulowoozaako
[kyusa | edit source]Nga 7 Ogwokubbiri 2018, pulezidenti Yoweri Museveni yalonda Percy Tuhaise mu kkooti ejulirwamu ya Uganda/Kkooti ya Ssemateeka wa Uganda, nga balindirira okukkiriza palamenti .
Laba nabino
[kyusa | edit source]- Minisitule y’ebyamateeka ne ssemateeka (Uganda)
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-14-new-judges/688334-4296748-plu1x2z/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1288213/museveni-appoints-judges
- ↑ https://www.independent.co.ug/musota-gadenya-named-museveni-appoints-14-court-appeal-high-court/
- ↑ https://chimpreports.com/who-are-the-14-newly-appointed-judges/