Persis Namuganza

Bisangiddwa ku Wikipedia


Persis Namuganza munnayuganda era mminisita w'ebyettaka mu gavumenti ya Uganda. Yafuuka mminisita w'ebyettaka nga 6 Ogwomukaaga 2016. Mu kaseera kano, Namuganza ye mukulembeze omulonde okukiikirira essaza lya Bukono erisangibwa mu ddisitulikiti ya Namutumba mu lukiiko lw'eggwanga olukulu olw'ekkumi (2016-2021).[1]

Obulamu bwe obwasooka n'okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu ddisitulikiti ya Namutumba nga 5 Ogwekkumi 1984. Yasooka n'asomerako mu masomero agasangibwa mu ddisitulikiti ya Namutumba n'oluvannyuma n'agenda ku Mount Elgon High School mu Mbale gye yasomera O-Level. Bwe yava eyo, yagenda ku ssomero erisangibwa mu ddisitulikiti ya Luweero era n'atuulirayo ebigezo bya siniya ey'omukaaga mu 2003.

Mu 2006, Namuganza yafuna ddipulooma mu bubalirizi bw'ebitabo (diploma in accounting) okuva ku Makerere Business Institute (naye ate tasomerangako ku Makerere University). Mu mwaka gwegumu (2006), yaweebwa ekifo ku Kyambogo University era n'amaliriza ddiguli ya Bachelor of Social Work and Social Administration mu mwaka gwa 2009. [2] Mu 2018, yamaliriza ddiguli ya master's in international relations ku Cavendish University Uganda [3]

Olugendo lwe nga tannayingira byabufuzi[kyusa | edit source]

Olugendo lwe yalutandikira mu kitongole kya Anti Corruption Coalition Uganda mu mwaka gwa 2009 gye yali avunaanyizibwa okuteekateeka enkola zonna ez'okulwanyisa enguzi mu Uganda. Nga wayiseewo omwaka gumu, yeeyunga ku kitongole kya Pearl of Africa Research and Accountability gye yaweereza okuva mu mwaka gwa 2010 okutuuka mu mwaka gwa 2012. Bwe yava awo yafuuka omumyuka w'omubaka ppulezidenti mu ddisitulikiti ya Luweero era n'aweereza mu kifo ekyo okuva mu mwaka gwa 2012 okutuuka mu 2015. [4][5]

Olugendo lw'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2016, Namuganza yeesogga ebyobufuzi bwe yeetaba mu lwokaano lw'okuvuganya ku bukulembeze bw'ekitundu kya Bukono, ekisangibwa mu ddisitulikiti ya Namutumba. Mu lwokaano olwo, yajjira ku kkaadi ya National Resistance Movement n'awangula era nga mu kaseera kano y'akyaliko. [6]

Emivuvuŋŋano[kyusa | edit source]

Mu mwezi Ogwokusatu mu mwaka gwa 2018, bammemba 32 abatuula ku kakiiko akamanyiddwa nga Busoga parliamentary caucus baatuula era ne basalawo okuwera Persis Namuganza okuva ku kakiiko olw'okweyisa mu ngeri gye baalaba nga tesaanidde. Akakiiko kaavunaana Persis Namuganza olw'okukunga abalonzi be bakube era batuuse obuvune ku Kyabazinga William Gabula Nadiope IV n'omukubiriza w'olukiiko lw'eggwanga Rebecca Kadaga bwe yali ku lukuŋŋaana lwe yakuba mu kitundu ekimanyiddwa nga Ivukula mu ddisitulikiti ya Namutumbamu mwezi Gwokusatu ogw'omwaka 2018.[7]

Nga 12 Ogwokusatu 2018, Daily Monitor yafulumya eggulire eryali ligamba nti kaliisoliiso wa gavumenti, Irene Mulyagonja yali anoonyereza ku Namugaza okuzuula oba nga talina biwandiiko bya buyigirize ebimukkiriza okubeera mu kifo kye yali aweerezaamu mu kiseera ekyo. Okunoonyereza okwo kwatanulwa okwemulugunya okwaweebwayo abantu abamu mu kitundu kye gy'asibuka ekya Busoga, nga 7 Ogwokusatu 2018.[8]

Laba ne[kyusa | edit source]

Busoga

Akakiiko ka Uganda

Ebijulizo[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://campusbee.ug/news/minister-namuganza-graduates-from-cavendish-university/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2021-03-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
  8. https://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-academic-papers-Busoga-Bukono-County-Namuganza/688334-4337460-vbwd05z/index.html

Emikutu emirala[kyusa | edit source]