Jump to content

Pillar of shame (Empagi yo Buswavu)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Pillar of Shame in Orange

Empagi Y'obuswavu (Pillar of Shame) kye kimu ku bibumbe omusajja omu Danish omububumbi Jens Galschiot. Empagi Y'obuswavu buli emu eweza obuwanva bwa mitta 8 era ebimu kubibumbe bino byakolwa mukikomo,koppa,ne munkokoto. Ekibumbe kino kyalagwa eri ensi ku lukunngaana oluyitibwa "FAO" olwatuula mu Rome mu 1996.Okuva ku olwo Empagi z'obuswavu eziwera 3 zaasimbibwa mu Hong Kong,Mexico,ne Brazil. N'eyokuna mu Berlin gye yali eyina okusimbibwa naye tesimbibwanga naguno gwaka.

Obubonero

[kyusa | edit source]

Okusinzira Galschiot,http://www.aidoh.dk/art_and_events/pos/ukposdok.htm Empagi Yobuswavu elaga obwezigoro bwebifananyi ku? ekigenda mumasso nokujukiza abantu kumpisa embi zebayisamu banabwe, nobutadayo kweyisa nga byakutale. Okwegotagota nokwewetaweta okulabikira kwabantu obulabikira ku Empagi Yobuswavu kabonero akalaga okutyobora,okuyisayisamu amasso, nobutawa kitibwa eri kinomu. langi enzirugavu eri kukibumbe kino kabonero akalaga okunyolwa nokungubaga,eri abatyobolwa.Kisobola okozesebwa kunjuyi zombi awali obukubagano neteba asonga munne lunwe nti ye mukyamu aba yemutufu.

Empagi Yobuswavu(The pillar of shame) mu Hong Kong

[kyusa | edit source]

Empagi Yobuswavu mu Haking Wong Podium ku setendekero Hong Kong,mu 2008. China ekibiina "Hong Kong Alliance"mukuwagilwa kwa kinakyo ekiyitibwa "Patriotic Democratic Movements"mu China abalwanirila okutyobola eddembe lyobuntu basiga empagi Yobuswavu langi e yakakyungwa okuwagira pojekiti eyitibwa Langi Yakakyungwa The Color Orange( Langi ya Kakyungwa).http://aidoh.dk/?categoryID=55 Pillar of Shame Mu Hong Kong Empagi Yobuswavu eyasimbibwayo yoyakolwa munkokoto,era yasoka kusimbwa mu kibangirize ekiyitibwa "Victoria Park" mu 1997,okujukira abantu abatugumbulwa ngawayise emyaka 8 abatugumburilwa mu kibangirize "Tiananmen Square"ngabekalakasa mu 1989.Ekibumbe kiliko abantu 50 begosesegose nokwewetaweta nga kekabonero okulaga abo abafira mukuyiganyizibwa gavumenti.kubuturilo bwekibumbe kino kuliko ebikwata kubaffa nebifananyi byabwe ngabiworedwako era nga kuwandikidwako munimi nga olungereza, noluchina mubigambo bino "The Tiananmen Massacre", "June 4th 1989" and "The old cannot kill the young forever."

Empagi Yobuswavu omulundi gwayo ogusoka yetorozebwa emisubawa ngajikumidwa "Candlelight Vigil"okujukira emyaka 8 okwekarakasa okumanyidwa nga "Tiananmen Square protests"nga 3 Juni 1997.Mukiro kye nakku zomwazi 4 Juni 1997, abayizi basetendekero balwanira awanasimbwa ekibumbe kino.Oluvanyuma lwakavuvungano kano ne polisinabakulira setendekero eno olutalo balurinyako era kusaawa 9 ogwekiro nebasitura ekibumbe kino ekiweza kilo 2000(2tons)nekitekebwa kukituti kye kizimbe ekiyitibwa "Haking Wong" kusetendekero ya Hong Kong, Naye ebitundu byakyo ebimu tebyesobolwa kuyungibwako kuba ekituti kyali tekisobola kuwanirila buzito.Empagi Yobuswavu eno yasimbwa mukiffo kyekimu nga 16 juni 1997.

Mubiseera bino Empagi Yobuswavu yeyongera okulagwa mu sentendekero ezenjawuro:

  • Chinese University of Hong Kong nga 28 Sebutemba 1997
  • Lingnan University (Hong Kong)|Lingnan College nga 2 Novemba 1997
  • Hong Kong Baptist University nga 29 November 1997
  • Hong Kong University of Science and Technology nga 23 Janwari 1998
  • Hong Kong Polytechnic University nga 1 Maki 1998
  • City University of Hong Kong nga 29 Maki 1998.

Nga 31 Mayi 1998, kumukolo ogwokujukira "Tiananmen Square protests"nga wayise emyaka 9, ekibumbe kino kyazibwa mu kibangirize ekitibwa "Victoria Park"Nate era emisubawa negikumwa butto. Ku makya ngemisubawa teginakumwa,omusajja Omuhongokong naye no nga musizi wabifananyi yayiira Empagi Yobuswavu peyiro zalangi emyufu bbiri, nga bwagamba nti omusayi gwa bantu ogwayibwa nage gwemusayi gwange."[1]

Nga 24 ne 25 Sebutemba 1998,ekibiina kyabayizi basentendekero ya Hong Kong ekiyitibwa "HKUSU"kyakuba akalulu ku mutwe ogugamba nti oba Empagi Yobuswavu esimbwa ku sentendekero oyo oluberera. held a general . Era obululu bugenda okumala okubarwa nga abayizi 1,629 ku 2,190 bebawagira nti esimbwe luberera,[2]era nate empagi Yobuswavu nesimbwa butto kukituti"Haking Wong"nga 3 Desemba 1998. Nate era kumajukira agomulundi ogwe 10 agamanyidwa nga"Tiananmen Massacre"era yalagwa eri abantu ne misubawa negikumwa nate mukibangirize ekiyitibwa"Victoria Park"mu 1999.[3] Without the University authorities' endorsement, the Pillar was moved back to the Haking Wong podium after the anniversary,[4][3] Omukolo gwokusirikirila okujukira emyoyo gyabagenzi gwakolwa nga gukulemberwa ekibiina kyabayizi"HKUSU"nekinakyo "The Hong Kong Alliance in Support of Patriotic Democratic Movements" mu China era gukolwa buli Mayi wabuli mwaka.

Nga 30 Apuli 2008, Empagi Yobuswavutyasigwa langi eyakakyungwa ngakyekimu kumikolo gya purojekiti gyayatuuma The Color Orange( Langi ya Kakyungwa) okujukiza oba okusisimula abantu ba China okurwanirila eddembe lyo buntu elyabwe elyobwebange. Naye kwolwo omubumbi Galschiot yamibwa olusa okuyingira mu Hong Kong,naye ekibiina ekiyitibwa "Hong Kong Alliance in Support of Patriotic Democratic Movements"mu China nekiwoma omutwe mukola omulimu guno nga yetaliwo ngadizibwa ewabwe kubutaaka e Denmark.

Empagi Zobuswavu Endala

[kyusa | edit source]

ebiffo mwe zasimbwa:

  • Ostiense kumugukirilo gwekisawe kye nyonyi, Rome, Italy,mu 1996,mubiseera olukungana oluyitibwa "FAO",olwali kumulamwa gwa bantu abaffa enjala munsi yonna,obutali bwenkanya mungabanya ebikozesebwa ekyenkanyi munsi yonna.[5]
  • Acteal, Chiapas,e Mexico mu 1999,okujukira ekiffo omwatirwa abantu ekirindi abawereladala 45 omukolo guno ogwatumwa ellinya "Acteal Massacre|December 1997 massacre of 45 members of the civil society group".[6]
  • Brasilia, Brazilmu 2000 kumukolo ogwokujukira abatibwa ekitabantu kyebatuuma elya "Eldorado dos Carajás massacre" mu 1996. Era gweyongeramu ebugumu negusimburizibwa negutwaribwa mukibuuga wenyini ekitabantu wekyali"Belém",musaaza "Pará".[7][8]

Empagi Yobuswavu yali yakusimbwa mu kibuuga Berlin,e Bugyelimani,kumukolo gwokujukira abatibwa mubiseera bya banazi,"Holocaust victims|victims of the Nazi regime"Naye olwabizibu ebyagana nyindo okwegala omubumbi ono yasazamu purogekiti eno.[9]

Emigogo gyengato egiwerela daala 16,000,nga buli gumu gukikirila omuntu eyatibwa mu 1995 mukitta bantu ekiyitibwa "Srebrenica massacre"era gyakunganyizibwa negitekwa kuwankaki wa Brandenburg mukibuugai Berlin, kusabitti Julayi 11, 2010. Engato zakunganyizibwa nga akabonero okulaga nti wade Empagi Yobuswavu teliwo naye tugyikirilizamu,zakunganyizibwa omugyelimani nakyawa Phillip Ruch's ngekijukizo eri Srebrenica.[10]

Etelekero Lye Bifanannyi

[kyusa | edit source]

Laba Nawano

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. Chu, Prisca & Luk, Mandy (5 June 1999). Artist adds `personal touch' to Pillar, The Standard
  2. Lam Wan Rhonda (17 May 1999). "Students to erect Pillar of Shame permanently", The Standard
  3. 3.0 3.1 Wong, Samantha (3 June 1999). "Pillar of Shame still without a home" South China Morning Post
  4. Staff reporter and agencies (6 June 1999) "Campus war of words over pillar", The Standard
  5. The Pillar of Shame in Rome - at the FAO Summit, 1996. Aidoh.dk. Retrieved on 2010-11-16.
  6. The Pillar of Shame in Mexico, 1999 - A memorial of the Acteal massacre. Aidoh.dk. Retrieved on 2010-11-16.
  7. The Pillar of Shame in Brazil, 2000 - A memorial of the Eldorado massacre. Aidoh.dk. Retrieved on 2010-11-16.
  8. Danish Pillar of Shame finds Permanent Site in Northern Brazil, Press release, 23-04-00. Aidoh.dk. Retrieved on 2010-11-16.
  9. The Pillar of Shame in Berlin - a Memorial for the Victims of Nazi Terror. Aidoh.dk. Retrieved on 2010-11-16.
  10. VOA | Thousands Mourn Srebrenica Massacre Victims, Criticize UN | News | English. .voanews.com (2010-07-11). Retrieved on 2010-11-16.

Ezenyongeza

[kyusa | edit source]