Prince Wasajja Kiwanuka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Prince Wasajja Kiwanuka..

Gyeyazaliibwa = Kasubi Uganda

Kitaawe = Omulangira Nakibinge Vicent (RIP)

Nnyina = Omuzaana Nalukwago Maureen (RIP)

Okuzaalibwa = (1980-02-29) 29 February 1980 (age 44)

Gyeyasomera = Kyambogo University
=(Dipuloma y'obusomesa)
Makerere University
=(Digiri esooka ey'obusomesa)
Kampala University
=(Digiri eyokubiri mu busomesa)
American University
(Digiri eyokusatu mu byempuliziganya)

Omulimu = Ssabasomesa|Ssabakenkufu,

Amanyiddwa nga = Omulangirizi

Ekibanja = https://omulangirizi.traditions.go.ug


Prince Wasajja Kiwanuka Mulangira okuva mu Lulyo Olulangira olwa Buganda Uganda. Kitaawe wa Wasajja, Omulangira Nakibinge yali muganda wa Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi II, Kabaka wa Buganda owa 36. Ye mutandisi wa Ssetendekero eyitibwa Royal Open University.

Prince Wasajja Kiwanuka amannyiddwa nga omusomesa omukenkufu asomeseza mu zi Ssentendekero okwetoloora obuvanjuba bwa Africa. Omuli; Uganda, Kenya, Tanzania, ne Rwanda. [1]

Omulangira Wasajja Kiwanuka munnabyabuwangwa omugundiivu era musomesa wa buwangwa. Obuwangwa abukulidemu kyokka atute n'obudde nakola okunoonyereza wamu nokubusoma. Yali omu ku beetaba mukunoonyereza ku Buwangwa mu Bika bya Buganda nga ali mu Kabaka Foundation. Okunoonyereza kuno, n'emisomo gino gyayitibwa Clan-Based Philanthropy [2] byasasulibwa Ford Foundation. Oluvannyuma lwokutendekebwa kuno, Prince Wasajja yafuuka musomesa wa buwangwa naddala ebikwata ku Bika bya Buganda.

Omulangira yayongera nasoma ebyafaayo by'obuwangwa mu bintu bya Africa abirala nga asomera mu bitongole nga I love Black People ne Kemetic Orthodoxy gyeyasomera ebikwata ku nzikiriza yekiddugavu, Oluvanyuma Wasajja yatandika kaweefube wokuzuukusa omwana w'omudugavu okwesamba obuwangwa bwa bazungu n'okutumbula obuwangwa ebwekinansi objja mu mulembe gwetuliko kati.

Obuto N'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Omulangira Wasajja yazaalibwa mu Lulyo Olulangira olwa Buganda era nakulira mu Masiro ga Kasubi Tombs.Era yatandika okusoma e Kasubi Family School, Nabulagala Rd nga ava mu Masiro e Kasubi. Oluvannyuma yegatta ku Kasubi C/U Primary School. Bazadde ba Wasajja baafa akyali mu Primary era yakuzibwa Jjajjawe omukyala azaala kitaawe, Omuzaana Nasuuna Annet (RIP) wamu n'abazaana abalala ababeera mu Masiro.

Bweyamaliriza pulayimale, yagenda ku Mengo Senior School e Bukesa. Omulangira O-Level yagituulira Bunamwaya ku Aggrey Memorial School. Oluvannyuma, yeeyunga ku Lubiri Secondary School gyeyasomera Senoir ey'okutaano neyo mukaaga. Nga ali ku Lubiri S.S, yali mukulembeze wa bayizi atwala eby'okwesanyusa n'ebiduluza; yali Pulezidenti wa Interact Club era Chayimani wa Red Cross. Wasajja yakola bulungi nafuna obuyambi bwa gavumenti nga ayingira e Kyambogo University.

E Kyambogo University, Omulangira yafunayo Dipulooma mu by'obusomesa mu 2003. Mu 2006/7, yasalawo yeyongereyo e Makerere University nayongera okukuguka mu by'obusomesa ku mutendera gwa digiri. Yatikkirwa mu January 2010 era amangu ddala neyewandiisa atandike omutendera oguddako.

Omulangira Wasajja, ekiseera kino nga ayambibwa Prof. Amb. Badru Kateregga yamaliriza ddigiri eyokubiri ku Kampala University era naawebwa ekifo ky'obusomesa enkyenkalakkalira mu Ssetendekero eno. Bweyamaliriza, Prof. Kateregga yakubiriza Wasajja yeyongereyo amalirize ne PhD. Yasomera mu American University era namaliriza mu 2014.

Ebikwata ku mirimu[kyusa | edit source]

Prince Wasajja yatandika mangu okukola kubanga bazadde be baafa mangu. Wabula wadde yali akola, teyalekeraawo kusoma.

Mu 2003, Wasajja yakakasibwa nga akulira ebyobulambuzi mu Masiro ge Kasubi. Era yatandiika okusomesa mu Secondary Schools ezimu mu Kampala. Muno mwalimu; Kampala Students' Centre, Nateete Mixed Academy, Agrolinks Academy, Namasuba, Victoria High School, Busabala Rd, namalala.

Mu 2010 nga Wasajja yakamaliriza e Makerere, Prof. Badru Kateregga yamuwa omulimu mu Kampala University nga omusomesa w'oluzungu. Oluvannyuma nga amaliriza digiri eyokubiri, yalondebwa okubeera Academic Registrar ku ttabi lya Kampala University e Masaka mu Buddu. Yakomawo e Kampala nayambako mu kutandika essomero lya Kampala University Graduate School e Mutundwe era yali mumyuka walikulembera.

Mu 2015, nga amaze nokuttikirwa digiri eyokusatu, Wasajja yegatta ku St. Lawrence University, Uganda nga akulira essomo lya basoma mu luwummula (Distance and Inservice). Era yasomesanga abayizi abaali basoma ddigiri eyokubiri mu; busomesa nabo abaali basoma okuba bakayungirizi ba kampuni n'abantu (Public Relations)

Mu 2017, nga avudde mu kalulu kabakulembeze be ggwanga mweyali yesimbyewo okuba omubaka wa Paliyamenti owa maserengeta ga Rubaga [3] , Omulangira Dr. Wasajja yegatta ku Kampala International University e Kansanga. Nga ali ku KIU, yasangayo eya omusomesa we kati omugenzi Dr. John Kalema eyamusemba mu bakulu ba Ssentendekero abeera omukwanaganya we ssomo ly'ebyennimi.

Mu 2018, Dr. Prince Wasajja yasala booda nayingira Rwanda. Yalondebwa okubeera akulira Senta yamasomo ge byennimi ku University of Kigali. Oluvannyuma yasuumusibwa nafuuka Dean omujjuvu ewe ssomo ly'ebyenimi n'ebyempuliziganya. [4]

Prof. Prince Wasajja Kiwanuka

Mu 2022 nga Dr. Wasajja amaze nga amaze okukaakasibwa nga Ssabakenkufu Professor, yeyunga ku Ssentedekero ekkulu ey'ebyobulambuzi n'ebyenfuna mu Rwanda (UTB). Yalondebwa okulira Senta y'ebyennimi n'empuliziganya. Oluvannyuma Ssentendekero yamulonda akulembera pulojekiti ey'okukola ekibanja ku mutimbagano abannonyereza abakugu wamu nabanoonya emirimu kwebasobola okusisinkanira abeetaga obukugu bwaabwe. [5]

Ebitabo bye yawandiika[kyusa | edit source]

Prof. Wasajja Kiwanuka awandiise ebitabo ebiwerako. Ebisinga bikwata ku busomesa, naddala eri abasomesa olulimi oluzungu. Kyoka yawandiika nebikwata ku buwangwa, eby'omwoyo, nebitabo ebikwata ku bulamu obwa bulijjo. Nga tannayingira Makerere University mu 2013, yawandiika akatabo ku byafaayo bya Masiro ge Kasubi ne ba Ssekabaka abazikiddwayo. Yazaako the Missing Dairy Katongozebwa 2005. Nga amaliriza digiri ye eyokubiri mu 2011 nafulumya [6]

Okukyusa amannya ge[kyusa | edit source]

Omulangira Wasajja yazaalibwa nga ye Wasajja James Wabula lumu abeera ali mulukungaana lwensi yonna mu France, yafuna okusoowagana noomu ku yivu banne eyamuvunaana okusomesa ku bwetwaze kyokka nga ye (Wasajja) akyetisse erinnya lyabafuzi baamatwale. Bino webyatuukirawo, Omulangira Wasajja yali amaze emyaka nga etaana nga asomesa ku ngeri Africa gyesobola okwetaguluza enkola ezekigwiira Pan Africanism. Nga avude mu France mu 2019, Wasajja yasalawo agende mu kooti akyuse amannya mu butongole. Kino kyakakasibwa bwekyafulumira mu ggulire lya gavumenti ya Uganda erirambika ensonga zino erya Uganda Gazette [7]

Obuvunaanyizibwa obw'obwannakyewa[kyusa | edit source]

Omulangira Wasajja yatandika okuwereza obwakabaka mu 2003 nga yakulira eby'obulambuzi mu Masiro e Kasubi, Kasubi Tombs. Nga attuse e Makerere University mu 2016 yalondebwa nga Ssentebe w'abaana abaganda abeggatira mu kibiina kya Baganda Nkobazambogo. Omwaka oggwaddako yalondebwa nga Ssentebe wa ba Ssentebe ba Nkobazambogo mu masomero n'amatendekero agawaggulu.

Ennyumba y'Omulangirizi[kyusa | edit source]

Omulangirizi Royal House Logo

Omulangira Prof. Wasajja Kiwanuka nga amaze okufuna okutendekebwa kwonna mu byobuwangwa ku mitendera egiwerako, yangirirwa nga Omulangirizi. Yatandika okuwereza obubaka eri abantu bonna obukwata ku buwangwa n'ennono zaabwe. Yawandiika ebitabo ebiwera ku buwangwa n'enzikiriza yekinnansi omuli; Alphanome: The True Path to God ne Alphanome: The Forbidden Truth Wasajja yegatta ku bantu abejawulo abalafuubana okwagazisa abantu obuwanga bwabwe. Omwo nga mulimu basawo ab'ekinnansi n'abenzikiriza y'obuwangwa n'ennono.

Omulangira Wasajja Kiwanuka yakolanga Ssalongo mu Lubiri lwa Ssekabaka Mwanga II Basammula Ekkere II era Naalongo oba Naalinya wa Mwanga II ye Mumbejja Victoria Nkinzi muwala wa Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II Omulangira Wasajja afuba nnyo okulaba nga azaawo enkola Kabaka Mwanga II zeyali yettanira ennyo nga akyafuga Obuganda.


Soma ne ku bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwako[kyusa | edit source]

  1. Sabiiti, Daniel (25 May 2023). "Prof. Prince Wasajja: New Digital Platform". KT Press. Kigali. Retrieved 20 June 2023.
  2. Kabaka Foundation (19 March 2020). "Clan Philanthropy". Kabaka Foundation.
  3. Daily Monitor (3 December 2015). "Prince Wasajja nominated for Rubaga South. #UgandaDecides". Daily Monitor.
  4. Akayezu, Jean de Dieu (12 April 2019). "Umwarimu muri iyi kaminuza, Kiwanuka Wasajja". Igihe. Kigali. Retrieved 20 June 2023.
  5. Bahizi, Heritier (30 May 2023). "Prince Wasajja Kiwanuka, the INNODIP Project Coordinator". The New Times. Kigali. Retrieved 20 June 2023.
  6. John Roger Kurtz (1998). Urban Obsessions, Urban Fears: The Postcolonial Kenyan Novel. Africa World Press. pp. 15–16. ISBN 978-0-86543-657-2.
  7. Uganda Gazette (19 March 2020). "IN THE MATTER OF THE OATHS ACT. CAP. 19, PRINCE WASAJJA KIWANUKA, Page 64". Uganda Gazette.