Payisoggolaasi
- REDIRECT Template:Charles Muwanga
Payisoggolaasi yali kakensa omubalanguzi (mathematician) eyateekawo Eggereeso lya Payisoggolaasi (the Pythogoras theorem) eryeyambisibwa ennyo mu ssomo ly’essomampimo (geometry) eriri wansi wa sessomo ly’ekibalangulo (the mathematics discipline).
Payisoggolaasi yagereesa nti mu mpetosatu ennesimbu (right angled triangle) era eyitibwa “mpuyisatu ennesimbu” (rightangled trigony), olwesimbu olwa kyebiriga (height squared) gattako olugalamiro olwa kyebiriga (base squared) kyenkana olwewunzifu olwa kyebiriga (hypotenuse squared).
Singa olwesimbu(height) luba “a” ate olugalamiro nga luli “b”, olwewunzifu nga luli “c”, kiba kitegeeza nti enjuyi essatu zonna bw’ozeebiriga (when you square all the three sides), ofuna nakyenkanyanpuyi (equation) bweti: a2+b2= c2. Eryo ly’eggereeso lya Payisoggolaasi.