Rahmah Pinky

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Rahmah Pinky[1] (amannya ge amazaale ye Nanyanzi Rahmah yazaalibwa mu Gw'omusanvu 12, 2004) munnaUganda omuyimbi ayimbira mu kibiina kya Team No Sleep (TNS). Yawandiisibwa okudda mu kifo kya Sheebah Karungi, eyava mu kibiina kino.[2]

Obulamu n'omulimu gwe[kyusa | edit source]

Pinky yazaalibwa Kawempe, eggombolola esangibwa muKampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Yasomera ku ssomero lya Lugoba Parents Nursery & Primary School, erisangibwa e Kazo mu muluka gwa Angola oguli mu Ggombolola y'eKawempe.[3] Yaweebwa ekifo okusomera ku ssomero lya Kibibi Moslem Senior Secondary School gyeyamalira siniya ey'okuna. Oluvannyuma yadda ku London College School, erisangibwa e Nansana Town, gyeyamalira siniya ey'omukaaga. Mu kiseera kino asomera ku International University of East Africa.[4][5]

Yatandika eby'okuyimba nga akyali muto era yali mu kkwaaya y'essomero. Okuyimba okuvaamu ssente yakutandika mu 2019 n'oluyimba lwe olwasooka olwa Tukooye, lwe yakolera mu Badman Records. Ennyimba ze zibuulirira nookuzzaamu amany, era oluyimba lwe olusinga okumanyika lwe lwa Superstar Wankuba.[6]

Ennyimba zeyayimba yekka[kyusa | edit source]

  • Superstar
  • Tukooye
  • Girl child
  • Omuzaade with Fresh Kid
  • Maanyi
  • Kyekyo
  • Selector
  • Ku kwagala
  • Onyuma Okulaba
  • Walwawo

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://mbu.ug/2022/02/22/seven-teen-pinky-releases-6-track-maiden-album/
  2. https://mbu.ug/2022/01/07/sheebah-breaks-silence-on-quitting-team-no-sleep/
  3. https://www.yellow.ug/company/12745/lugoba-parents-academy
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-09. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-09. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.pulse.ug/entertainment/music/rahmah-pinky-drops-super-star-video/ef3gex7