Richard Kasagga
Richard Juuko Kasagga (eyazaalibwa nga 4 Okwomusanvu 1993) munnayuganda omuzannyi w'omupiira azannya ng'omuzibizi mu ttiimu ya Olympique Béja mu Ligue Professionnelle 1 eya Tunisia ne ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda.
Olugendo lwe mu mupiira
[kyusa | edit source]Ng'atandika omupiira
[kyusa | edit source]Kasagga yatandika okuzannya omupiira mu ttiimu ya Uganda Premier League Kiira Young FC mu 2013 gye yazannyira okutuusa mu 2015.
Salam Zgharta
[kyusa | edit source]Oluvannyuma yagenda mu ttiimu ezannyira mu liigi ya Lebanon ey'oku ntikko ekiyitibwa Salam Zgharta era n'azannya emipiira 20 egya liigi, mwe yateebera ggoolo 1. Era azannyidde ttiimu eno ey'omu ggwanga lya Lebanon mu mizannyo gy'ekikopo kya AFC Cup.
Okudda e Uganda
[kyusa | edit source]Mu 2016, yassa omukono ku ndagaano ne Kampala City Authority eya Uganda gye yazannyira okumala sizoni bbiri n'oluvannyuma ne yeegatta ku Uganda Revenue Authority SC. Kasagga yazannyira mu Uganda Premier League ng'ali ku URA okuva mu 2017 okutuuka mu 2018.
Aizawl FC
[kyusa | edit source]Kasagga yazannya omupiira gwe ogusooka mu Buyindi ng'azannyira Aizawl mu I-League mu sizoni ya 2018-19. Yazannya emipiira gya liigi 10 mu sizoni eyo. Mu 2020, yazza buggya endagaano ye ne ttiimu eyo esangibwa mu Mizoram. Yazannya emipiira 13 mu sizoni ya 2019-20 n'emipiira 3 mu sizoni ya 2020-21. Nga 24 Ogwolubereberye 2021, yateeba ggoolo ye esooka ku Aizawl nga bazannya ne Indian Arrows mu mupiira ogwaggweera mu maliri ga ggoolo 1-1.
Omupiira gw'eggwanga
[kyusa | edit source]Kasagga yazannya omupiira gwe ogusooka ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda nga 13 Ogwomusanvu 2013 nga battunka ne Tanzania mu mpaka African Nations Championship eza 2014 mu luzannya olw'okuddiŋŋana.
Mu Gwolubereberye 2014, omutendesi Milutin Sredojević, yamuyita okubeera ku ttiimu y'eggwanga lya Uganda eneetaba mu mpaka za African Nations Championship eza 2014. Ttiimu yamalira mu kifo kyakusatu ku kimeeza mu mpaka z'ebibinja oluvannyuma lw'okuwangula Burkina Faso, okugwa amaliri ne Zimbabwe ssaako okuwangulwa Morocco.
Yakiikirira eggwanga lye emirundi 37 nga mw'otadde n'ebikopo ebinene ng'empaka za African Nations Championship eza 2016 ne CECAFA Senior Challenge Cup.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Kasagga yazaalibwa mu Lyantonde era ng'oggyeko omupiira, yamaliriza ddiguli ya B.Sc in Construction Management ku Makerere University.
Ebibalo bye eby'omupiira
[kyusa | edit source]Ttiimu
[kyusa | edit source]Ttiimu | Sizoni | Liigi | Ekikopo | Continental | Omugatte | |||||
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
Empaka | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | Emipiira | Ggoolo | ||
Salam Zgharta | 2014-15 | Lebanese Premier League | 11 | 1 | 0 | 0 | 7 | 0 | 18 | 1 |
2015-16 | 9 | 0 | 0 | 0 | - | 9 | 0 | |||
Omugatte gwa Salam Zgharta | 20 | 1 | 0 | 0 | 7 | 0 | 27 | 1 | ||
Aizawl | 2018-19 | I-League | 10 | 0 | 0 | 0 | - | 10 | 0 | |
2019-20 | 13 | 0 | 0 | 0 | - | 13 | 0 | |||
2020- 21 | 3 | 1 | 0 | 0 | - | 3 | 1 | |||
Omugatte gwa Aizawl | 26 | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 26 | 1 | ||
Olympics ya Beja | 2021- 22 | Ligue 1 eya Tunisia | 12 | 1 | 0 | 0 | - | 12 | 1 | |
Omulimu gwe gwonna | 58 | 3 | 0 | 0 | 7 | 0 | 65 | 3 |
Emipiira gy'ebweru
[kyusa | edit source]Ttiimu y'eggwanga | Omwaka | Emipiira | Ggoolo |
---|---|---|---|
Uganda | 2013 | 10 | 0 |
2014 | 7 | 0 | |
2015 | 7 | 0 | |
2016 | 3 | 0 | |
Omgatte | 27 | 0 |
Engule
[kyusa | edit source]Kampala Capital City
- Uganda Premier League: 2015-16
Aizawl
- Mizoram Premier League: 2019-20
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ Template:Soccerway
- ↑ "Richard Kasagga". national-football-teams.com. Archived from the original on 24 January 2022. Retrieved 21 June 2022.
Obulandira obulala
[kyusa | edit source]- Ebifa ku muzannyi Richard Kasagga ku Eurosport.com
- Richard Kasagga ku WorldFootball.net