Uganda Revenue Authority SC
Uganda Revenue Authority Football Club (mu bumpi bagiwandiika nga URA FC) ttiimu ya Uganda ey'omupiira gw'ebigere esingabibwa mu Kampala. Kiraabu eno ezannyira mu Liigi ya Uganda ey'ababinywera era nga yatandikibwawo mu 1997.[1] Ewangudde liigi ya Uganda ey'ababinywera emirundi 4 ne Uganda Cup emirundi 3.[2] Ku semazinga wa Afrika, URA ekiikiridde Uganda emirundi 7, 6 kugino mu kikopo ekyetabibwamu kiraabu empanguzi n'ogumu mu CAF confederations cup.[3]
Eby'afaayo bya Liigi eno
[kyusa | edit source]URA yegatta ne Lyantonde FC mu 2001. URA yali yagyibwa mu liigi y'omubuggwanjuba.[4]Lyantonde, abaatuuka ku fayinolo za Uganda Cup mu 2000, tebaasobola kungaanya ssente okweyongera yo mu kibinja kya Buganda Super mini-league. Bakkiriziganya nti URA eyali ey'okusasula ssente z'okwewandiisa batwale n'ekifo kya Lyantonde mu liigi.[5] Oluvannyuma lw'okusumusibwa, ttiimu y'atwala erinnya lya URA era netandika okuzannya mu kibinja kya Buganda mini-league.[6]
Sizoni ya kiraabu eno yasooka okwetaba mu kibinja kyababinywera mu 2002. Ebadde emu ku ttiimu ezibadde zisinga okubeera epanguzi mu liigi okuva lwe yasumusibwa nga temalirangako mu kifo ky'awansi ku kimeeza.
Ekisaawe
URA FC yakozesa nga kisaawe kya Mehta e Lugazi ng'amaka gaabwe gyebakyaliza ng'emipiira okuva mu 2011 okutuusa mu 2017, gyebava okudda mu kisaawe ky'eggwanga kyabakazaako erya Mandela National Stadium, anasinga kyebamannyi nga Namboole okuva mu 2019 okutuusa mu 2020.[7] Kiraabu eno ey'omupiira yakozesaako n'ekisaawe kya Nakisunga Saza Grounds e Mukono ng'amaka gaabwe paka emabegako awo bwebaddayo ku kisaawe kya Mehta e Lugazi ng'amaka gaabwe gyebakyaliza emipiira.[8] Kiraabu y'omupiira era yakyalizaako ku kisaawe kya Arena of Visions ku Ndejje University nga kino kyali kituuza abantu 40,000
Obuwanguzi bwe yatuukako
[kyusa | edit source]- Abawanguzi (4): 2006, 2006–07, 2008–09, 2010–11
- Ow'okubiri: 2012–13
- Abawanguzi (3): 2005, 2011–12, 2013–14
- Ow'okubiri: 2000,[lower-alpha 1] 2008–09, 2010–11
- Ow'okubiri: 2007, 2008
Empaka z'okulukalu lwa Africa
[kyusa | edit source]- 2006 CAF Confederation Cup
- Empaka ez'okusunsulwamu: World Hope 2–1
- Ku mulundi ogwa 32: yawangulwa Al-Merrikh ne goola 3–2
- 2007 CAF Champions League
- Empaka ez'okusunsulwamu: yawangulwa Coton Sport ne ggoolo 3–0
- 2008 CAF Champions League
- Empaka ez'okusunsulwamu: nga yawangulwa ZESCO United ku njawulo ya Ggoolo 2–0
- 2010 CAF Champions League
- Empaka ez'okusunsulwamu: nga yawangulwa Zanaco FC ku njawulo ya Ggoolo 4–1
- 2012 CAF Champions League
- Empaka ez'okusunsulwamu: nga yawangulwa Lesotho Correctional Services ku njawulo ya Ggoolo 3–0
- Mu lawundi eyasooka: bawangulwa mu kukyala kwa tiimu ya Djoliba AC oluvanyuma lw'okulemererwa okugenda e Mali olw'okubalukwo kw'olutalo lw'abayeekera olwa 2012 Malian coup d'état; bawangulwa ne ggoolo 2–0
- 2013 CAF Champions League
- Empaka ez'okusunsulwamu: nga yawangulwa Coton Sport mu kanyomero ka penati
- 2015 CAF Confederation Cup
- Empaka ez'okusunsulwamu: nga yawangulwa ASSM Elgeco Plus ku njawulo ya Ggoolo 4–2
- Mu lawundi esooka: bawangulwa Orlando Pirates ku njawulo ya Ggoolo 4–3
Abasambi abali ku ttiimu kati
[kyusa | edit source]- 2022
|
|
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.kawowo.com/2018/10/29/kakembo-takes-over-ura-football-club-ceo-mantle/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-3
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-3
- ↑ http://allafrica.com/stories/200110300404.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-24. Retrieved 2022-11-26.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1023575/lyantonde-ura-favourites-nssl
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-7
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Revenue_Authority_SC#cite_note-8
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Omukutu gwa Webusayiti omutongole