Jump to content

Rose Emma Cherukit

Bisangiddwa ku Wikipedia

Rose emma Cherukit munayuganda munnnabyabufuzi era omubaka wa Palamenti. Akiikirira abantu ba disitulikiti y'e Kween nga omubaka omukyala owa disitulikiti mu palamenti ya Uganda . Ono mmemba wa National Resistance Movement (NRM) ekibiina ekikubirizibwa Yoweri Kaguta Museveni pulezidenti wa Uganda.

Emirimu[kyusa | edit source]

Cherukut yaliko Omubaka wa Pulezidenti (RDC) mu disitulikiti y'e Kapchorwa . Yajja mu palamenti oluvannyuma lw’okuwangula ekifo ky’omubaka n’obululu 19,479 okusinga Chekwel Lydia eyafuna obululu 13,550. Cherukut muwala wa muganda wa Lydia Chekwel gwe yawangula. Chekwel mufumbo eri kojja wa Cherut.

Mu palamenti ya Uganda, Cherukut mmemba ku kakiiko akakola ku nsonga z’amateeka ne palamenti. Era mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti (Local Government).

Okusika Omuguwa[kyusa | edit source]

Cherukut baamulumirizza okukozesa omukono ogw'ekyuuma eri omu ku bakuumi be bwe yali akyali Omubaka wa Pulezidenti e Kapchorwa bwe yakuba omukyala ow’emyaka 14 amasasi bweyagezaako okugumbulula abatamiivu abaali bamenya amateeka ga kafyu aga Covid 19 .

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]