Rose Kirumira

Bisangiddwa ku Wikipedia
Rose Kirumira
Born
Namubiru Rose Kirumira


(1962-10-28) October 28, 1962 (age 61)
Known for Sculpture
Rose Kirumira
Born
Namubiru Rose Kirumira


(1962-10-28) October 28, 1962 (age 61)
Known for Sculpture

Namubiru Rose Kirumira (yazaalibwa nga 28 Ogw'ekkumi 1962).[1] Munnayuganda Omubazzi era lecturer omukulu mu ttendekero lya Margaret Trowell School of Industrial and Fine Arts (MTSIFA), Dipaatimenti ya Visual Arts, College of Engineering Design Art and Technology, mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere].[2] Yakuguka mu by'abantu, okubajja embaawo, ebibumbe by'enkokoto n'ebumba. Emirimu jye mulimu ekibumbe kya King Ronald Mwenda Mutebi kye yayambako okukola[3] omubazzi n'omukugu Francis Nnaggenda e Bulange Mengo,[4] ne Famire mu Ddwaliro ly'e Mulago mu Kampala.[5]

Emisomo[kyusa | edit source]

Yasoma emisomo gye egya undergraduate ne graduate studies mu Yunivasitte y'e Makerere gyeyafunira PhD ye. Ekiwandiiko kye ekya dissertation kyatuumibwa The Formation of Contemporary Visual Arts in Africa; Revisiting Residency Programmes.

Emirimu[kyusa | edit source]

Eby'okunoonyereza[kyusa | edit source]

Rose Kirumira mu 2010 yetabba mu puloojekiti y'okunoonyereza, Visual Art Skills and Activities Towards Enhancing Teaching How to Begin Reading and Writing of Early Childhood Education in Uganda mu Yunivasitte y'e Nkumba.[6] Yettabba mu pulojekitti z'okunoonyereza/ebiwandiiko by'asomesa ebya manual Write a Story ebya Rockefeller Foundation ne ttendekero lya Makerere Institute of Social Research.[7] Mu 2005, Yettabba mu puloojekitti y'okunoonyereza eya research project 8 Teachers Booklets: An Approach to Teaching Beginners of Reading and Writing at Lower Primary School in Uganda, a Makerere Institute of Social Research project for the Rockefeller Foundation.[7] Engero z'abaana 35 ezinyonyoddwa nazzo z'ali zeezimu ku puloojekitti y'okunoonyereza ey'omwaka gwa 2005 mu Yunivasitte y'e Makerere/Rockefeller Foundation ey'amasomero ga pulayimale 450 mu Uganda ge yakola nago.[7] Rose Kirumira yakola puloojekitti ya Model for an Indigenous Ceramic Ware Cottage Industry, puloojekitti y'okunoonyereza mu mwaka gwa 2003 mu ttendekero lya Margaret Trowell school of Industrial and Fine Arts, Puloojekitti ya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere]/Japan AICAD.[7]

Emy'olesso egy'okumanya[kyusa | edit source]

  • Personalities (2010), Tulifanya Art Gallery in Kampala[8]
  • Different But One, (1996-2013) at Makerere Art Gallery[9]
  • Women on the Move and Artist of the Millennium (1995-2000), Makerere Art Gallery and Nommo Gallery[10]
  • Faces (1996), Tulifanya Art Gallery[11]
  • Rise with the Sun (1995), an exhibition of women and Africa, Winnipeg, Canada[12]

Emirimu egy'okumanya[kyusa | edit source]

Rose Kirumira yabajja ekibumbe kya King Ronald Wenda Mutebi ku Paalamenti ya Buganda Parliament,[13] n'ekibumbe kya Famire ku Ddwaliro ly'e Mulago Kampala mu 1994. Y'abajja Maama[14] ku kittebbe kya UNDP ekikulu.[15] Yeyongelayo n'ayiiya ekibumbe kya The Page mu Winnipeg, Canada mu 1995,[15] Ambassador mu United States mu 1999[15] n'Omumbejja, ekibumbe mu Denmark, wakati wa 1997 ne 2010.[16] Yabajja ekifaanayi kya Friendship in Changchun China mu 2000.[17] Mu 1997 yakolero ekanisa ya Don Bosco Vocational Chapel mu Disitulikitti y'e Kamuli ebifaananyi ebibajje.[15]

Kirumira Namubiru yawandiika esuula mu katabo ka An Artist's Notes on the Triangular Workshops.[18] Yawandiika n'akatabo ka Identity Gender and Representation: Reflecting on the Sculpture 'Mother Uganda' .[7] Emirimu gye nga gilagga omuzannyo gw'Omweso : omuzannyo gw'ennono ya Buganda gwafulumizibwa mu mwaka gwa 2019.[19]

Okusoma okulala[kyusa | edit source]

  • A Companion to Modern African Art. (2013). Germany: Wiley.
  • Döring, T. (2002). African Cultures, Visual Arts, and the Museum: Sights/sites of Creativity and Conflict. Netherlands: Rodopi.
  • Kasfir, S., & Förster, T. (Eds.). (2013). African Art and Agency in the Workshop. Indiana University Press. Retrieved December 5, 2020, from http://www.jstor.org/stable/j.ctt16gh6fp
  • Sanyal, S. K. (January 1, 2002). Transgressing borders, shaping an art history: Rose Kirumira and Makerere's legacy. African Cultures, Visual Arts, and the Museum: Sights/sites of Creativity and Conflict, 133–159.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/kirumira-rose-namubiru/
  2. https://cedat.mak.ac.ug/academics/schools/mtsifa/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-03. Retrieved 2024-04-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-11. Retrieved 2024-04-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://allafrica.com/stories/201404140137.html
  6. https://www.scribd.com/document/59438584/Nkumba-Last-2
  7. 7.0 7.1 7.2 7.3 7.4 https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/kirumira-rose-namubiru/
  8. https://www.ru.ac.za/artsofafrica/people/writersinresidence/previous/drrosekirumira/rosekirumira/
  9. https://www.independent.co.ug/arts-different-one-21/
  10. https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/kirumira-rose-namubiru/
  11. https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/kirumira-rose-namubiru/
  12. https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/kirumira-rose-namubiru/
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-11. Retrieved 2024-04-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://www.forbesafrica.com/woman/2014/08/01/nudism-or-beauty/
  15. 15.0 15.1 15.2 15.3 https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/kirumira-rose-namubiru/
  16. http://rosekirumira.net/about.html
  17. http://rosekirumira.net/about.html
  18. https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier)
  19. https://www.si.edu/object/siris_sil_1111248