Rosemary Seninde

Bisangiddwa ku Wikipedia

Rosemary Nansubuga Seninde, era Rosemary nansubuga Sseninde yazaalibwa Rosemary Nansubuga nga 7 Ogusooka 1965, munayuganda munabyanjigiriza era munabyabufuzi. Ye Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza mu kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogw;omukaaga 2016, ng'adda mu kifo kya John Chrysostom Muyingo eyafuuka Minisita omubeezi w'eby'enjigiriza ebya waggulu. Mu kiseera kye kimu akola Palamenti ya Uganda.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Rosemary Nansubuga yazaalibwa mu disitulikiti eye Wakiso nga 7 Ogusooka 1965. Yagenda ku St. Agnes Boarding Primary School e Naggalama gyeyatandikira okusoma. Oluvannyuma yagenda mu St. Joseph's Senior Secondary School mu Nsambya okusoma O-Level, n'amaliriza mu 1982. Yasomera mu Trinity College Nabbingo okusoma A-Level, n'amaliriza mu 1985.

Mu 1997 yafuna ebbaluwa y'obusomesa okuva mu Lady Irene College, mu Ndejje, kati ekitundu kya Ndejje University. Omwaka ogwaddirira, yeetaba mu kubangulwa okwa wiiki 10 mu National Institute of Small Industries Extension Training (NISIET), mu Hyderabad, India, n'attikirwa satifikeeti.

Mu 2001, yafuna dipulooma mu by'ebyenjigiriza, eyamuweebwa Institute of Teacher Education (ITEK), kati ekitundu kya Kyambogo University. Mu 2005, yafuna diguli esooka mu Human Resource Management, eyamuweebwa Makerere University. Oluvannyuma mu 2009, yafuna diguli ey'okubiri mu Arts mu ethics and public management.

Omulimu gw'obusomesa[kyusa | edit source]

Yatandika omulimu ogw'obusomesa mu 1987, ng'omusomesa/omulambisi mu ssomero ly'ekisulo erya pulayimale, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1994. Oluvannyuma yakyuusibwa ku Wampeewo Senior Secondary School ng'omusomesa, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2000. Mu 2001, okumala ebbanga eritaaweza mwaka gumu, yakolera ng'omusomesa ku Shimoni Teacher Training College.

Eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2001, yayingira eby'obufuzi bya Uganda era n'alondebwa mu Palamenti ya Uganda okukiikirira abakyala ba disitulikiti eye Wakiso. Yaddamu okulondebwa mu 2006, 2011 ne 2016, era ng'ekifo y'akiwangula. Mu kabineeti eyalondebwa nga 6 Ogw'omukaaga 2016, yalondebwa nga Minisita omubeezi Ow'ebyenjigiriza bya pulayimale.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Rosemary Nansubuga Sseninde yafumbirwa Zephaniah Kizza Kikoba Walube Sseninde okuva nga 12 Ogwekkumi 1985. Maama w'abaana musanvu. Muwala we, Jean Sseninde, muzannyi w'omupiira ogwa pulofeesoni, mu ttiimu y'abakyala eya London Phoenix, mu English Second League.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]