Rosemary Tumusiime
Rosemary Bikaako Tumusiime (yazaalibwa nga 17 Ogwokuttaano 1962) Munnayuganda omukungu mu by'okutunda, [./Public_administratorhttps://en.wikipedia.org/wiki/Public_administrator public administrator], omulwaanirizi w'eddembe ly'abakyaala era munnabyabufuzi. Mmemba wa Paalamenti omulonde owa Municipality y'Entebbe era akiikirira NRM, ekibiina eky'ebyobufuzi ekifuga mu Uganda.[1] Ye mukyaala eyasookera ddala okukiikirira constituency okusukka emyaaka asattu (three decades) era nadila Muhammad Kawuma mubigere eyaweereza mu bisanja bibiri ebyedirigana okuva mu 2006 okutuusa 2016.[2] Mu Paalamenti ey'ekkumi, aweereza nga mmemba w'akakiiko ak'obwenkanya aka Equal Opportunities era ne ku kakiiko ku nsonga za Pulezidenti. Mmemba wa NRM Parliamentary Caucus,[3] Buganda Parliamentary Caucus era ye muwanika wa Network for African Women Ministers and Parliamentarians (NAWMP).
Nga tanatandika mirimu gye egy'obufuzi, Tumusiime yali [./Branch_managerhttps://en.wikipedia.org/wiki/Branch_manager branch manager] ku Office Services, Supplies & Equipment (OSSE) Limited, kalabaalaba womu ssolo gwa Civil Aviation Authority of Uganda (CAA), omumyuuka wa offiisa w'ebyobutunzi n'[./Freight_transporthttps://en.wikipedia.org/wiki/Freight_transport omumyuuka w'okuyigiza n'okufulumnya ebintu mu gwanga] owa Uganda Coffee Marketing Board era; n'omumyuuka w' omukuumi w'ebitabo era omumyuuka w'omukuumi w'ebiwandiiko owa Minisitule w'ebyobulamu. Ye mmemba omutandisi wa UWESO Entebbe era yaweereza nga ssentebe w'akakiiko k'abakyaala ekya women organization's National Executive Committee okuva mu 2000 okutuusa mu 2006. Yaliko ssentebe wa TASO Entebbe, yali ssentebe wa board ya Success Microfinance Limited mu 2010, sentebe wa community advisory board owa International AIDS Vaccine Initiative (IAVI) okuva mu 2001 okutuusa 2013 era ssentebe wa Women's Network owa Lake Victoria Region Local Authorities Cooperation (LVRLAC) okuva 2006 okutuusa 2012.
Eby'obulamu n'emisomo
[kyusa | edit source]Tumusiime yazaalibwa mu [./Entebbe_General_Hospitalhttps://en.wikipedia.org/wiki/Entebbe_General_Hospital Entebbe Grade B Hospital], Entebbe, Disitulikitti y'e Wakiso nga 17 Ogwokuttaano 1962 mu famire e'yenzikiliza eye Kikatuliki ey'abantu be Tooro, nga omwaana asooka mu baana munaana Taata we Robert Bikaako munnantebereza budde eyawumula, era ne maama we omugenzi Mary Bikaako yali musomesa.
Emisomo gye egya pulau]yimale yagifunire mu kabuga k'Entebbe ku St. Theresa Primary School e Lake Victoria School, nafuna satifikeeti ya PLE mu 1975. Tumusiime oluvanyuma yasomera [./Gayaza_High_Schoolhttps://en.wikipedia.org/wiki/Gayaza_High_School Gayaza High School] ne Christ The King Secondary School Kalisizo femisomo gye egya O-Level ne Caltec Academy Makerere emisomo gye egya A-Level, nafuna satifikeeti ya EACE mu 1979 era ne satifikeeti ya UACE mu 1982. Yali avunaanyizibwa ku bitabo mu library ye Gayaza High School era yali munkulembeze omuyizi ku Christ The King Secondary School Kalisizo.
Tumusiime yeyongerayo ku National College of Business Studies eyo gyeyafunira Dipulooma ey'awagulu mu by'ekitunzi mu 1991 era oluvanyuma neyeyongerayo ku Yunivasitte y'e Makerere, gyeyatikibwa mu 1999 ne Diguli ya Commerce.
Emirimu n'ebyobufuzi
[kyusa | edit source]Obukugu bwe
[kyusa | edit source]Tumusiime yatandika emirimu gye nga omumyuuka w'akuuma ebiwandiiko mu 1980 era nga omumyuuka w'akuuma ebitabo mu 1982 ku Minisitule y'ebyobulamu eya Ministry of Health(MOH). Mu 1988,yegatta ku Uganda Coffee Marketing Board as a omumyuuka w'avunaanyizibwa ku kuyingiza n'okufulumya ebintu mu gwanga, ekifo kyeyalimu okutuusa 1996 gye yalinyisibwa eddaala okutuuka mu kifo ky'okumyuuka offiisa w'ebyekitunzi. Mu 1997, Tumusiime yegatta ku Civil Aviation Authority of Uganda nga omukebezi w'omusolo, ekifo kyeyalimu okutuusa 2000 bweyafuna omulimu nga Manager wa branch ku Office Services, Supplies & Equipment (OSSE) Limited.
Emirimu gy'ebyobufuzi
[kyusa | edit source]Tumusiime yatandika nga RCI Councillor owa Kitooro Central mu 1989 mu kiseera aba local councils (LCs) nga bakyaayitibwa resistance councils (RCs). Mu 1991, yalondebwa nga RCIII Councillor owa Division B Entebbe era yaweereza nga Councillor w'abakyaala mu Disitulikitti y'e Mpigi okumala emyaaka essattu. Mu 2001, yalondebwa nga LCIV Councilor wa Nakasamba, Kitasa, Kakeeka ne Bugonga; ekifo veteran Councillor kyeyalimu okutuusa 2016 bweyalondebwa nga mmemba wa Paalamenti.
Tumusiime yawangula akalulu ok'omukibiina ak'ekibiina kya NRM mu kulonda kwa 2015 general elections mu 2016 n'afuuka mmemba Paalamenti ey'ekkumi eya Pearl of Africa akiikirira Entebbe Municipality mu Disitulikitti y'e Wakiso.[4] Mu Paalamenti ey'ekkumi, Tumusiime aweereza ng'omuwanika wa Network for African Women Ministers and Parliamentarians (NAWMP) era nga mmemba w'akiiko ku Equal Opportunities ne ku kakiiko ku nsonga za Pulezidenti. Mmemba wa Uganda Women's Parliamentary Association (UWOPA), the Buganda Parliamentary Caucus, the Parliamentary Forum on Climate Change (PFCC), the Uganda Parliamentarians Forum on WASH (UPF-WASH), the Uganda Parliamentary Prayer Breakfast Fellowship ne the NRM Parliamentary Caucus.
Eby'obulamu bwe
[kyusa | edit source]Rosemary Bikaako Tumusiime namwandu wa Edward Gumizamu Tumusiime, omulwaanyi w'omunsiko era eyaliko LCV Councillor wa Division y'e Entebbe Municipality, eyaffa mu 2013. Baalina abaana bana: Edward Tumusiime Jr, Liz Tumusiime, Enos Tugume Tumusiime n'omugenzi Doreen Tashobya Tumusiime.[5]
Era, Tumusiime yali omuwanika w'ekibiina kya Mothers Union ne ssentebe wa St. John's Parish Church, Church of Uganda, Entebbe. Okwongelako yaweereza mu kkanisa y'Abakristaayo nga Omukubiriza w'ekkanisa ku bulabirizi bw'Entebbe okuva mu 2006 okutuusa mu 2014.[4]
Mmemba wa boards of governors aga ma somero agawerako mu Entebbe, omumyuuka wa sentebbe w'akakiiko ka National Executive Committee aka Uganda Women's Effort to Save Orphans (UWESO), sentebe w'ekitongole kya [./The_AIDS_Support_Organizationhttps://en.wikipedia.org/wiki/The_AIDS_Support_Organization The AIDS] Support Organization (TASO) Entebbe era ali mu bibiina by'entababuvobwaawamu ebirala ebitonotono[6]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=209
- ↑ http://entebbenews.com/nrms-rose-tumusiime-roars-over-entebbe-municipality-mp-seat/
- ↑ http://www.chimpreports.com/joy-in-entebbe-as-rosemary-tumusiime-wins-nrm-primaries/
- ↑ 4.0 4.1 http://entebbenews.com/veteran-councilor-rose-tumusiime-sweeps-entebbe-nrm-mp-flag-bearer-race/
- ↑ http://entebbenews.com/good-bye-doreen-tashobya-1992-2016/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-09-06. Retrieved 2024-04-30.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)