Rosette Kajungu Mutambi
Rosette Kajungu Mutambi (yazaalibwa mu Gwekumi 26, 1964) Munnayuganda professional social worker era ow'ebyamawulire, munnabyabufuzi era omukozi w'amateeka akiikirira abantu b'omu Disitulikitti y'e Mbarara nga omubaka omukyaala owa disitulikitti eyo mu Paalamentti ya Uganda. Mmemba w'ekibiina kya [./Https://en.wikipedia.org/wiki/National_Resistance_Movement National Resistance Movement](NRM),[1] ekibiina eky'obufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda wansi wa ssentebe Yoweri Kaguta Museveni Pulezidenti we gwanga lya Uganda.[2]
Eby'emisomo
[kyusa | edit source]Kajungu Mutambi yasomera emisomo gya O'level mu Maryhill High School eyo gyeyafuna Uganda Certificate of Education(UCE) ye mu mwaka gwa 1981. Oluvanyuma yewandiisa mu Bweranyangi Girls' Senior Secondary School okusoma emisomo jye ejya A'level era n'akola ebigezo bya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu mwaka gwa 1984 bweyamaliriza ne yegatta ku Yunivasitte y' e Makerere eyo jye bamutikira ne diguli ya bachelor's degree in arts mu mwaka gwa 1988. Yafuna satifikeetti mu public relations okuva mu (MTAC) Nakawa mu mwka gwa 1992 era n'agatako dipulooma mu by'amawulire mu mwaka gwa 1993 okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute (UMI). Oluvanyuma yasoma satifikeetti ey'awagulu mu by'amawulire okuva mu ttendekero lya International Institute for Journalism Berlin mu mwaka gwa 1996 era nagatako postgraduate dipulooma mu management okuva mu Yunivasitte ya Leicester mu mwaka gwa 2008. Mu bissera binno asoma diguli ya master's mu social sector planning and management okuva mu [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere_University Yunivasitte y'e Makerere].[3]
Emirimu
[kyusa | edit source]Kajungu Mutambi ye yali omutandisi/dayirekita wa HEPS Uganda coalition ey'okutumbuula eby'obulamu okuva mu mwaka gwa 2000 okutuusa 2016,.[4] Yali volunteer coordinator wa Health Action east Africa okuva mu mwaka gwa 1998 okutuusa 2000 era yali offiisa w'ebyempuliziganya mu minisitule y'ebyempuliziganya ne broadcasting/yafisi ya Pulezidentti okuva mu mwaka gwa 1990 okutuusa 1998. Wakati wa 1994 ne 1996, Kajungu Mutambi yali omumyuuka wa, pulogulaamu ekugira AIDS, yali omumyuuka w'omunonyereza ku Recon Uganda limited okuva mu mwaka gwa 1987 okutuusa 1989, era health consultant w'entababuvobwawamu okuva mu 2002 okutuusa na kati. Ye mubaka omukyaala owa Paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 2016.[5] Mu Paalamentti, aweereza ku kakiiko ka local government accounts ne ku kakiiko k'ebyobulamu. Mmemba wa Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) eyo gyaali ssentebe w'akakiiko ka succession act round table committee.[6]
Kajungu Mutambi alina membership mu professional bodies; Uganda media women association nga mmemba omujjuvu era associate mmemba mu Association of social workers.
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2024-04-15.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/news/ea/NRM-to-endorse-yoweri-museveni-for-another-term/4552908-5431318-l5hclwz/index.html
- ↑ https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=99
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1295562/fought-healthcare
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-30. Retrieved 2024-04-15.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-18. Retrieved 2024-04-15.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)