Jump to content

Ruhakana Ruganda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Dr.Ruhakana Rugunda

Livingstone Ruhakana Rugunda oba Ndugu nga bwatera okuyitibwa. Musajja munna Uganda omusawo omutendeke ate nga era munnabyabufuzi omugundiivu eyaliko ssabaminisita wa Yuganda okuva mu 2014 okutuuka 2021 nga tannafuuka ssabaminisita era yali aweerezzaako mu bifo ebyenjawulo mu gavumenti ya pulezidenti wa Uganda ow'omwenda General Yoweri Museveni eyakwata obuyinza mu mwaka1986. Ebifo bino byeyaweerezamu mulimu okukola nga minisita avunanyizibwa ku nsonga z'amawanga amalala okuva 1994 okutuusa 1996, minisita ow'ensonga z'omunda muggwanga okuva 2003 okutuuka 2009. Oluvannyuma yaliko omukiise wa Uganda ow'enkalakkalira mu mukago gwa mawanga amagatte okuva 2009 okutuusa 2011 era minisita w'ebyobulamu wakati wa 2013 okutuuka 2014.[1]

Yalondebwa okubeera ssabaminisita wa Uganda nga 18 Sebutemba 2014 okutuuka 21 ogw'omukaaga 2021.Ono okutuuka ku buvunaanyizibwa buno yaddira Amama Mbabazi mu bigere oluvannyuma lw'okusuulibwa omukulembeze wa Uganda Yoweri Museveni .[2] era nga bweyanyuka obuweereza buno yasikirwa omukyala Robinah Nabbanja Musaafiiri.[3]

Obuzaale bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Ruhakana Rugunda yazaalibwa mu disitulikiti y'eKabale mu bugwanjuba bwa Uganda nga 7 Novemba 1947. Mu buto Rugunda yatuulanga nasomera kitaawe Surumani Rugunda empapula zamawulire ,era bweyakula kino kyamuleetera okwagala okwenyigira mu by'obufuzi . Rugunda yasomera Kigezi High School ne Busoga College Mwiri gye yaweereza nga omukulembeze wa bayizi bonna nga tanneegatta ku Makerere University Medical School n'oluvannyuma University of Zambia gye yasomera eddagala , natikkirwa diguli mu Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery. Oluvannyuma yasomera ku University of California, Berkeley naafuna diguli eyookubiri mu Master of Science in public health.[1][4]

Nga tannayingira byabufuzi bya Uganda, Rugunda yakola nga medical officer mu Zambia, omusawo mu disitulikiti ya Columbia General Hospital mu Washington, D. C., ne ku Kenyatta National Hospital e Nairobi, Kenya.[1][4]

Eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Ng'asoma ku Makerere University mu Uganda, Rugunda,yali asinga kumanyibwa nga "Ndugu" (kyalu Swahili ekitegeeza "muganda wange ") , yaweerezanga pulezidenti wa National Union of Students of Uganda (NUSU), ekibiina kya bavubuka eky'obufuzi.[5] Nga munnabyabufuzi omuvubuka, Rugunda yali kitundu ku Uganda People's Congress (UPC) era kigambibwa yali kulusegere nnyo olwa pulezidenti Apollo Milton Obote.Ebimu ku bibuuzo ebyamubuuzibwa nga tanaffa , Obote yannyonnyola lwaki Rugunda yafunamu obutategeeregana ne Yoweri Museveni n'ekibiina ki National Resistance Movement. Rugunda yali omu kwabo abatono abaali Obote beyalaba abali ab'okukulembera ekibiina wamu n'eggwanga.[5]

Mu 1985 yasisinkanaabakulembeze bannayuganda National Resistance Movement (NRM) ku inn "Zum grünen Jäger"mu Unterolberndorf, Austria, mu lukiiko lw'okukwatagana mu bubba okwogera ku nteekateeka z'obufuzi ez'okununula Uganda. Museveni bweyatwala obuyinza mu 1986, Rugunda yafuna obukulembeze obw'enjawulo obw'obwomuddiringanwa : yali minisita w'eby'obulamu okuva 1986 okutuuka 1988, minisita w'emirimu , entambula n'empuliziganya okuva 1988 okutuuka 1994,minisita w'ensonga z'ebweru okuva 1994 okutuuka 1996, minisita w'amawulire okuva 1996 okutuuka 1998,minisita w'bwa pulezidenti okuva 1998 okutuuka 2001, minisita w'amazzi , ettaka n'obutonde okuva 2001 okutuuka 2003, ne minisiter w'ensonga z'omuggwanga munda okuva 2003 okutuusa 2009.[1][2]

Yaweerezaako nga ssentebe w'olukiiko lwa NRM olulonzi, nga omubaka wa palamenti owa munisipaali y'e Kabale era yaweereza nga pulezidenti w'olukiiko olufuzi olwa United Nations Environment Program (UNEP).Mu Julayi 2006, Rugunda yakulemberamu ttimu ya Uganda okuteesa ne Juba okussaawo emirembe n'aksbinja kabayeekera aka Lord's Resistance Army.[6][7]

Mu mwezi ogusooka 2009, yalondebwa nga omukiise wa Uganda ow'enkalakkalira mu mukago gwa mawanga amagatte . Mu kiseera kyekimu ekifo kyalinnyisibwa nadda ku ddala ly'o bwaminisita mu Uganda. Yaweerezaako nga pulezidenti w'olukiiko olukuumi mu Julayi 2009 ne mu Octoba 2010 olukiiko olukuumi lwe lwali olw'ekkekwa okumala emyaka 2.[8]

Rugunda yalondebwa nga Katikkiro nga 18 Septemba 2014.[1][2]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]
Ruhakana Rugunda ne mukyala we ,Jocelyn Rugunda ne vice pulezidenti shri M Ansari mu New Delhi

Rugunda yawasa Jocelyn Rugunda era nga bazadde ba baana abalenzi 4 .Mu biseera bye eby'eddembe anyumirwa okusoma, okuzannya tenisi n'omweso.

Na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://www.newvision.co.ug/news/1211928/uganda-ready-security-council-chair
  2. 2.0 2.1 2.2 https://www.newvision.co.ug/news/1310297/ruhakana-rugunda-prime-minister
  3. https://opm.go.ug/the-prime-minister/
  4. 4.0 4.1 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-16. Retrieved 2022-11-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 Bryan Langlands (1977). "Students and Politics in Uganda". African Affairs. 76 (302): 3–20. JSTOR 722010.
  6. https://www.newvision.co.ug/news/1166009/rugunda-lra-meet-peace-talks-plan
  7. https://www.newvision.co.ug/news/1166009/rugunda-lra-meet-peace-talks-plan
  8. https://www.newvision.co.ug/news/1211928/uganda-ready-security-council-chair
[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:S-off Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-endTemplate:UgandaPMsLua error: Invalid configuration file.