Jump to content

Ruth Molly Lematia

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ruth Molly Lematia Ondoru munayuganda munnabyabufuzi, munnamateeka era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntuera nga mubaka wa Palamenti ya Uganda era nga ye muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’amaka. Lematia era ataddewo amateeka n’enkola mu Uganda, naye abadde yeenyigira mu nkola y’ensi yonna n’ebitundu, ku mirembe n’enkulaakulana mu by'ebyenfuna mu mulimu gwe .

Gyenvudde n’obuyigirize[kyusa | edit source]

Molly Lematia yazaalibwa ku River Oli mu Arua central division 30 Ogw'ekkuminebiri, 1946, eri Sadaraka Oce ne Maliza Oberu Oce ab’e Paranga Nigo, Omuluka Paranga mu ggombolola eya Oleba, mu disitulikiti y’e Maracha. Yasomera Paranga Primary School gye yamalira emisomo gye egya pulayimale egyasigaddeyo era oluvannyuma, yeegatta ku Goli Senior Secondary School ne Mvara Senior Secondary School n’afuna O’level ne A level. [1]

Alina dipulooma mu by'obujjanjabi obw'enjawulo okuva mu ttendekero lya Mulago School of Nursing and Midwifery . Alina ne dipulooma mu by’okuzaalisa. [1]

Alina diguli ey’okubiri mu by’obulwadde bwa kkansa n’eby'obulamu by’ekitundu okuva mu yunivasite ya Case Western Reserve University, Amerika .

Emirimu[kyusa | edit source]

Wakati wa 2001 ne 2015, Lematia yaliko Kaminsona w’eby'obusuubuzi, eby’ekikugu, eby’emikono n’okutendeka abantu mu ddwaaliro e Mulago . Yaliko omumyuka w'akulira ebyobusawo mu ddwaaliro ly’abasomesa erya Kampala international University nga tannafuuka akulira eby'enjigiriza era omumyuka wa Cansala omukulu owa Aga Khan University, ettabi erya Uganda mu 2007 okutuuka mu 2008. Era yaliko eyebuzibwako mu West Nile University mu nsonga z'abasawo. Molly Lematia yaweerezako ng'omubaka wa palamenti ya Uganda okuva mu 2011-2016 nga omubaka wa palamenti mu disitulikiti y'e Maracha . Era yaliko kansala wa disitulikiti y’e Maracha wakati wa 2004 ne 2011. Yaliko akulira era eyebuzibwako mu Mayanja Memorial Training Institute okumala emyaka 8 okuva mu 2010 okutuuka mu 2018, okuva mu 2007 okutuuka mu 2016 yaweereza ng'eyebuuzibwako mu West Nile University mu nsonga za ba nnamusa.

Mmemba w’ebbangulira ly’ensi yonna erya kookolo, essomero ly’ensi yonna erijjanjaba abalwadde abayi, Uganda National Nurses Association ne Alpha chapter ya Sigma Theta Tau.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]