Ruth Tuma
Ruth Tuma (yafa 2016) yali munnabyabufuzi era omusomesa mu Uganda eyaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omusanvu (2001 - 2006) [1] n'ey'omunaana (2006 - 2011) ng'akiikirira Disitulikiti y'e Jinja . [2]
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Tuna yafuna ddiguli ye esooka ey'obusomesa mu masomo g'embeera z'abantu mu by’enjigiriza ne ddiguli eyookubiri mu by’enjigiriza mu kutegeka n’okuddukanya emirimu okuva mu yunivasite ya Uganda Christian University, Mukono . [1] N'era yasomera ne mu ttenderro ly'eggwanga ery'abasomesa erya Kyambogo National and Bishop Willis Teacher's Colleges. [1]
Tuna yali yamanyibwa olw’okulwanirira okusomesa abawala mu Busoga. [2] [3] Era yayambako abakyala bomubyalo ng’abawa endokwa z'emwanyi n’ensukusa z'ebitooke [2]
Tuma yaweereza ng'oomubaka wa paalamenti owa disitulikiti y’e Jinja okuva mu 2001 okutuuka mu 2006. [2] Mu kiseera Tuma we yabeerera mu palamenti, yeeyali ssentebe w’akakiiko ka paalamenti ak'abaana era mmemba w’obukiiko bw’ebyensimbi n’embalirira mu kakiiko ka paalamenti ya Uganda aka Parliamentarians for Global Action. [1] Yaweereza mu bifo ebirala omwali okubeera mmemba ku lukiiko olufuzi, omumyuka w’omukubiriza w’emirembe ne demokulasiya era pulezidenti w’ekibiina ekigatta abakyala ba yunivasite mu Afrika. [1] Mu 2007, yalaajanira okukuumibwa kw'abaana okuva mu ba ssedduvutto era n’asaba nti paalamenti erina okukola ennyo mu kukuuma eddembe ly’obuntu n’okulwanyisa obwavu. [4]
Mu 2016, Tuma yawangulwa Agnes Nabirye mu kamyufu ka National Resistance Movement .[2] [5]
Mu 2016, yafa kookolo nga 13th Omwezi ogwomusanvu mu ddwaliro lya Kampala International Hospital nda kiddirira okumala emyezi egiwereako ngalwanagana ne kkookolo. [5] Nga tannafa, yabuusibwa mu nnyonyi naatwalibwa e South Afrika okujjanjabibwa. [5] Tuma yaziikibwa mu maka ga bajjajjaabe mu disitulikiti y'e Namutumba . [1]
Obulamu bwe ng’omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Tuma yali yafumbirwa ne Rev. Canon Dr. Tom Tuma. Abaagalana bano baazaala abaana bana. [1]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 "Former Jinja district MP Ruth Tuma passes on". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2022-03-24. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - 1 2 3 4 5 "Jinja Former Legislator Succumbs to Cancer". ChimpReports (in American English). 2016-07-14. Retrieved 2022-03-24. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - ↑ "Ruth Tuma". ChimpReports (in American English). Retrieved 2022-03-27.
- ↑ "Ugandan legislators urge funding for children in northern Uganda - Uganda". ReliefWeb (in Lungereza). Retrieved 2022-03-27.
- 1 2 3 Gulumaire, Andrew. "Former Jinja Woman MP Dead". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2022-03-27. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content