Ruth Wanyana

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ruth Wanyana (eyazaliibwa 4 September 1975) munnayuganda munnakatemba alabikidde mu firimu ne pulogulaamu ez'enjawulo ku ttivvi nga kwotadde n'okuwereeza ku leediyo ezitali zimu[1].

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Wanyana yasokeera mu kibiina ekimanyidwa nga Black Pearls. Eyo gyeyava mu 1993 neyegatta ku kibiina ekirala ekya Afri Talents ekyali kitondeddwawo Abby Mukiibi [1].

Mu bya leediyo, Wanyana yaliko omuwereeza ku mukutu gwa Beat FM okuviira ddala mu 2005 n'okutuusa 2016 gyeyava olwo n'agenda mu Amerika.

Muzirakisa[kyusa | edit source]

Nga ayita mu kawefube eyatumiibwa "“Wanyana and Fans Day Out”, Wanyana yasobola okukunga bannakatemba banne mpozi nabawuliriza ba Beat FM okuddukirira abaana abataliko mwasirizi mu maka gaabwe aga Mercy Childcare Ministries[2]. Ekikolwa kino era yakiddamu mu 2014 nga kuluno yakyaalira New Dawn Foundation ekisangibwa Entebbe omuli abaana n'abakyala abalina HIV/AIDS [3].

Firimu mwalabikidde[kyusa | edit source]

Mukutambuza emirimu gye mu nsiike y'okuzannya firimu, Wanyana yasobola okuzannya n'okulabikirako mu firimu zezitali zimu okugeza[4]

  • Ezra
  • Last King of Scotland
  • Roses in the Rain
  • Murder in the City
  • Honourable
  • Interdependence
  • Ekwezenge

Ebirala[kyusa | edit source]

Emabegako, Wanyana yava e Uganda eri nga kati awangaliira mu Amerika[5]. Weyaviira e Uganda yali azadde mu munnakatemba munne John Segawa. Okusinziira ku yintaviyu eyafulumira mu lupapula lwa Weekly Observer mu 2013, Wanyana yeyogerako nga omuwagizi wa ttiimu y'omupiira ya Express FC.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2020-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2020-10-28. Retrieved 2020-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.ugandanewsreleases.com/%EF%BB%BFruth-wanyana-to-the-rescue/
  4. https://www.newvision.co.ug/news/1175518/moved-kids
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2020-10-28. Retrieved 2020-10-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)