Sam Bagenda
Sam Bagenda, nga amanyikiddwa ennyo nga Dr. Bbosa, (yazaalibwa nga 31 Ogwokusatu 1965), Munnayuganda nakinku mu kuzannya emizannyo era muyimbi.[1][2] Yatandika emirimu gye ng'omuyimbi, oluvanyuma Bagenda yafuuka omuzannyi omumanyifu, nga yasinga okumanyika mu filimu ya Malayalam Movie Escape from Uganda ne filimu ya That's Life Mwattu.[3] Bagenda yalondebwa nga omuzannyi wa Uganda ow'ekyasa mu 2000.[4]
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Yazaalibwa nga 31 Ogwokusatu 1965, mu Mukono, Uganda, mu famire y'abaana bana. Kitaawe Dr. Sam Bakiranze yali musawo ne nnyina Margaret Bakiranze yali musomesa. Emisomo gye yagitandikira mu Auntie Clare and City Nursery schools. Oluvanyuma yegatta ku Kitante Primary school era n'amaliriza emisomo gye egya siniya ku Lubiri Secondary School, Kampala ne Caltek Academy Makerere. Oluvanyuma yattikirwa Diguli ey'okubiri mu by'obusuubuzi eya Bachelor of Commerce n'obwagazi mu kunoonyereza okuva mu Ssettendekero wa Makerere University.[5] Ku luuyi olulala, yamaliriza emisomo gye egy'obubalirizi bw'ebitabo eya (CPA) okuva ku mu Kolegi ya Graffins College Kenya.[3][6] Yakolako nga omubalirizi w'ebitabo emyaka emitonotono nga tannayingira mu kuzannya katemba.[7]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Bagenda yatandika okuyimba mu Kkanisa ya Church Choir eya St. Pauls church e Mulago mu myaka gye egy'obuvubuka. Wabula oluvanyuma lw'omusuumba w'ekkanisa eyo okumugoba, yegatibwako ba mmemba abalala okuva mu kkanisa eyo n'ebasalawo okutandikawo ekibiina ky'abayimbi ekiyimba ennyimba z'eddiini ekya Sun Rose-85 mu 1985. Mu Gwekkuminebiri 1986, y'asooka kwegatta ku kibiina kya The Ebonies era neyeyongerayo n'okuyimba ng'omuyimbi w'eddoboozi eddene ng'ayambibwako omugenzi Jimmy Katumba, bayimba mu bikujjuko eby'enjawulo era oluvannyuma bafulumya oluyimba lwaabwe olw'ali oluwoomu olwa Twalina omukwano neguf.[3] Okuyimba kwe okwali okw'amaanyi kw'ali mu Gusooka 1987 ku mukolo omukulu ogw'okuggulawo ekifo kya Bat Valley theatre.[6]
Yakola okuzannya kwe okwasooka nga yazannya nga 'omusumba' mu muzannyo gw'okusiteegi ogwa The Dollar. Wayali atuuse ku ntikko y'okumanyika ng'omuyimbi, yasisinkana omuwandiisi era Dayilekita w'emizannyo J.W.K Ssembajwe.[3] Mu 1993, y'azannya ekifo kya 'Dr. Sam Bbosa' mu muzannyo ogulagibwa ku Telefayina ya Uganda ogwa That's Life Mwattu. Yafuuka w'amaanyi mu mawulire oluvanyuma lw'omuzannyo ogwo gw'eyamanyika ennyo nga 'Dr. Bbosa' naddala mu bantu babulijjo.[6]
Filimu ze yazannya
[kyusa | edit source]Omwaka | Filimu | Ekifo ky'eyazannyamu | Genre | Ref. |
---|---|---|---|---|
1993 | That's Life Mwattu | Dr. Sam Bbosa | film | |
2013 | Escape from Uganda | The Mayor | Malayalam Movie | |
Agony and Ecstasy | ||||
The Boss | ||||
Land Friends | ||||
Daisy | ||||
The Dollar | ||||
Dilemma | ||||
Bibaawo | ||||
OMG | ||||
Kyekyo |
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://filmhackers.org/artists/sam-bagenda/
- ↑ http://uganda.spla.pro/en/file.person.sam-bagenda-dr-bossa.49158.html
- ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 https://www.facebook.com/ebonies256/posts/know-your-starsam-bagenda-aka-dr-bbosa-before-so-many-of-you-were-born-dr-bbosa-/10153160649032661/
- ↑ https://www.pmldaily.com/news/2020/08/dr-bbosa-still-waiting-on-museveni-ugx-100m-pledge.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-05. Retrieved 2022-12-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 6.0 6.1 6.2 https://www.independent.co.ug/dr-bbosa-sam-bagenda/
- ↑ https://www.newtimes.co.rw/section/read/110899