Sarah Kiguli

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sarah Kiguli, MBChB, MMed (Pediatrics), MHPE, musawo w'abaana, munabyanjigiriza, era omunoonyereza mu by'ekisawo mu Uganda. Pulofeesa era y'akulira ekitongole ekya Pediatrics and Child Health mu Makerere University School of Medicine, ekimu ku Makerere University College of Health Sciences.

Ebyafaayo n'ebyenjigiriza[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu masekkati ga Uganda awo nga mu 1961. Yasomera mu Gayaza High School nga tanayingira Yunivaasite eye Makerere, yattikirwa diguli esooka mu ddagala n'okuloongoosa. Diguli ye ey'okubiri mu ddagala n'abaana nayo yagifunira Makerere. Oluvannyuma, yafuna diguli ey'okubiri mu Health Professions Education okuva mu Maastricht University mu Netherlands.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yakola mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital oluvannyuma lw'okumaliriza diguli ye esooka. Oluvannyuma yakola ng'omusawo mu ddwaliro lye limu okumala emyaka emirala ebiri nga tannaba kutandika pulogulaamu ye eya masters ey'emyaka esatu.

Oluvannyuma lw'okusoma MMed, yagenda mu maaso n'okukola mu kitongole eky'abaana mu MNRH era n'alondebwa okusomesa mu Makerere mu Department of Pediatrics and Child Health. Mu Makerere, yalondebwa ku kakiiko k'ebyenjigiriza ak'ekitongole ky'eddagala mu 2000. Oluvannyuma yeenyigira mu kuteekateeka enteekateeka y'ebyenjigiriza empya enagoberebwa mu masomero ag'obusawo.

Kiguli awandiise nyo mu biwandiiko by'abavubuka, era akola nnyo ng'omusawo w'abaana ng'ekitundu ku mirimu gye mu ddwaliro ne mu yunivasite.

Obuvunaanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Mu buyinza bwe nga Pulofeesa mu by'abaana mu Makerere University Medical School, ne mu Makerere University College of Health Sciences, Kiguli akola ng'omukugu eyebuzibwako ku by'abaana mu Mulago National Referral Hospital, eddwaliro ly'okusomesamu aba yunivasite.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]