Stanley Ntagali
Stanley Ntagali (yazaalibwa 1 March 1955) mulabirizi mu kkanisa ya Uganda ryawummula. Ono era yaliko ssenkulu oba cansala wa Uganda Christian University mu kiseera weyabeerera ssaabalabirizi w'ekanisa ya Uganda era nga yaliko omulabirizi wa Kampala okuva mu mwaka 2012 okutuuka mu 2020. Era yaweerezaako ng’Omulabirizi w'obulabirizi bwa Masindi-Kitara okuva mu 2004 okutuuka mu 2012.
Obuto n’emisomo
[kyusa | edit source]Ntagali yazaalibwa Kabale mu bugwanjuba bwa Uganda bazadde be ye mwami Ernest n'omukyala Molly Ntagali. [1] [2] bweyali aweza emyaka 16, ye nebazadde be baasengukira mu Disitulikiti y’e Hoima . [2]
Ntagali yasoma byaddiini era n’atendekebwa mu buweereza bwekanisa ku Bishop Tucker Theological College, essomero erisomesa abaweereza mu kanisa ya Uganda era n’atikkirwa satifikeeti mu by’eddiini mu 1981. Yagenda mu maaso n’okusoma oluvannyuma lw’okutuuzibwa, n’amaliriza diguli mu byenzikiriza Bachelor of Divinity okuva ku St. Paul’s University, Limuru mu Kenya era nasoma ne diguli ey'okubiri mu byeddiini n'enkulakulana okuva mu Oxford Center for Mission Studies nga ettendekero lino liyina enkolagana ne Middlesex University diguli ye ey'okubiri yajimaliriza mu mwaka 2000.
Okwawulibwa n'obuweereza
[kyusa | edit source]Mu 1981, Ntagali yatuuzibwa mu Kanisa ya Uganda. [3] Oluvannyuma yasindikibwa mu bitundu bya Karamoja nga omuminsani omubuulizi wenjiri okutuusa mu 1986. Oluvannyuma yaweereza nga omwawule mu Bulabirizi bwa Bunyoro-Kitara okutuusa mu 2002. [4] Yaliko Ssaabadinkoni w’e Masindi okuva mu 1994 okutuuka mu 1999 saako okubeera omuwandiisi w'obulabirizi bwa Bunyoro-Kitara okuva mu 2000 okutuuka mu 2002 lweyafuuka ssaabawandiisi wekanisa ya Uganda eyawamu mu 2003 okutuuka mu 2004. [1]
Ssaabalabirizi Henry Orombi Nga 19 December 2004 yatuuza Ntagali ng’omulabirizi w’Obulabirizi bwa Masindi-Kitara obwali bwakatondebwawo era nga Ntagali ye mulabirizi eyasooka okutukuzibwa Orombi. [5]
Ntagali yalondebwa abalabirizi ba Uganda mu lukiiko lwabwe olubataba okubeera ssaabalabirizi we kanisa ya Uganda owomunaana nga 22 Ogwomukaaga 2011era natuuzibwa ku bwa ssaabalabirizi nga 16 December 2012 mu Lutikko ya St. Paul e Namirembe .[6] [7] [8] Nga bweri enkola mu kanisa ya Uganda, Ssaabalabirizi wa Uganda aweereza ng’omulabirizi w'obulabirizi bwa Kampala (kuba bwebulabirizi obukulemberwa saabalabirizi) Ntagali era yafuuka omulabirizi mu kifo ekyo[9]
Oluvannyuma lw'okuweza emyaka 65 ssaabalabirizi kwawummulira mu kanisa ya Uganda nga 1 ogwokusatu 2020, Ntagali yawummula era Stephen Kaziimba, eyalondebwa nga 28 Ogwomunaana 2019, namusikira ku bwa Ssaabalabirizi bwa Uganda. [10]
Ebirowoozo bye
[kyusa | edit source]Ntagali yamanyibwa nnyo olwokuwagira okutuuzibwa kw’abakyala mu buweereza nga abaawule oba abalabirizi. [11] Ono era yawagira nnyo etteeka erirwanyisa ebisiyaga erya 2014 [12] era nga nebwelyasazibwamu kooti yasigala nga asaba wakolebwewo ku bisiyaga nga lirimu ebibonerezo ebikakali nga ekibonerezo ky’okufa .[13] Eteeka lino oluvannyuma lyaddamu neriyisibwa paalimenti ya Uganda yadde nga Ntagali yali yawummula dda [14]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Mu 1978, Ntagali yawasa mukyala we Beatrice. Ntagali n'omukyala bazaala abaana bana ab’obulenzi n’omuwala omu. [1] [15]
Mu mwezi ogusooka 2021, Stephen Kaziimba Mugalu nga ssaabalabirizi yayimiriza Ntagali mu buweereza mu kanisa olwebyali biganmbibwa nti Ntagali yali yenyigidde mu bikolwa eby'obwenzi n'omukazi omufumbo omusango Ntagali gweyakkirizza. [16] Ntagali yavaayo mu lujjudde nayatula era nasaba okusonyiyibwa ku mukolo ogwategekebwa mu April 2021 nga bajaguza emyaka 60 bukya kanisa ya Uganda efuna bwetwaze.[17] [18]
Laba ne
[kyusa | edit source]- Uganda Christian University
- Nakasero
- Church House, Uganda
- Olukalala lw'abakulembeze ba yunivasite mu Uganda
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 http://www.ukwhoswho.com/view/article/oupww/whoswho/U273239
- ↑ 2.0 2.1 http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=43233
- ↑ http://www.bristol.anglican.org/churches/uganda/whos-who/portrait-of-a-bishop/v
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-08-28. Retrieved 2024-09-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-17. Retrieved 2024-09-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.anglicannews.org/news/2012/06/the-rt-rev-stanley-ntagali-elected-8th-archbishop-of-the-church-of-uganda.aspx#:~:text=that%20the%20Rt.-,Rev.,Paul's%20Cathedral%2C%20Namirembe.
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Ntagali+is+new+CoU+Archbishop/-/688334/1433046/-/14gw18qz/-/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Ntagali+is+new+CoU+Archbishop/-/688334/1433046/-/14gw18qz/-/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2015-04-02. Retrieved 2024-09-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1506334/kazimba-elected-9th-archbishop-church-uganda
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-09-19. Retrieved 2024-09-07.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.huffpost.com/entry/stanley-ntagali-anti-gay-law_n_5648648
- ↑ https://www.churchtimes.co.uk/articles/2023/16-june/news/world/archbishop-of-uganda-takes-welby-to-task-over-criticism-of-anti-homosexuality-law
- ↑ https://www.parliament.go.ug/news/6672/anti-homosexuality-bill-passed-parliament-second-vote
- ↑ http://www.anglicannews.org/news/2012/06/the-rt-rev-stanley-ntagali-elected-8th-archbishop-of-the-church-of-uganda.aspx
- ↑ https://www.independent.co.ug/retired-archbishop-stanley-ntagali-suspended-for-adultery/
- ↑ https://www.independent.co.ug/ntagali-apologizes-seeks-forgiveness-from-christians/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/69451-adultery-archbishop-ntagali-makes-public-apology