Stella Atal

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Stella Atal (yazaalibwa mu 1983), nga Munnayuganda omusiizi wa langi era munnamisono, omutandisi era nnannyini era akulira kkampuni ya Atal Stella Fashion House, esangibwa mu kibuga Paris, France.[1]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Bukiikakkono bwa Uganda, ku mbalama z'obukiikakkono ez'ennyanja Kyoga. Stella okusoma yakutandikira Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Yava mu Uganda n'adda e Kenya gye yeeyongererayo n'emisomo gye. Oluvannyuma yamaliriza emisomo gye mu Bwakabaka bwa Bungereza. Alina Diguli esooka n'eyookubiri mu ssomo lya Fine Art.[2][3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu 2007, yatandika kkampuni ye eya, Atal Stella. Muno ng'akozesa ebintu ebiriwo omuli ebitakosa butonde, n'okweyambisa ebyo ebitakyakozesebwa n'abikolamu ssente. By'akola byoleseddwa mu myoleso okuli ogwa Africa Fashion Week New York, mu 2010 ne ku gwa Green Fashion Switzerland, mu 2011. Stella by'akola bifulumiddeko mu katabo akaganzi ennyo aka Italian Vogue magazine emirundi ebiri miramba.[4]

Mu 2016, yava e Kampala, mu Uganda n'agenda mu kibuga Paris, ekya Bufalansa. Omwaka ogwaddako yaweebwa layisinsi emukkiriza okukola n'okutunda engoye ze z'atonaatona ssaako ebikole ebya 'art' mu Bufalansa ne mu mawanga gonna agali mu mukago gwa European Union. Abuna amawanga ga Bulaaya omuli n'Obwakabaka bwa Bungereza ne America (United States.[3]

Ebirala[kyusa | edit source]

Stella Atal yawangula awaadi y'Omufirika munnamisono ow'omwaka mu awaadi za Ethical Fashion Awards, ezaali mu kibuga London mu 2008. Mu 2010 yawangula awaadi ya Afric Collection Fashion Award e Douala, mu Cameroon.[4]

Asomesa abayizi ba 'art' n'ebyemisono. Era akola n'ekitongole ky'ababundabunda, n'abavubuka abeetaaga obuyambi naddala abawala. Akola ne mu by'okubudaabuda abalwadde ba Siriimu Kampala ne mu bitundu by'Obukiikakkono bwa Uganda.[2]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://observer.ug/lifestyle/56540-fashion-designer-stella-atal-flying-uganda-s-flag
  2. 2.0 2.1 http://www.ugandandiaspora.com/ugandan-diaspora-social-networking-event-showcasing-ugandan-fashion-designer-stella-atal
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-29. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 https://klaart012.wordpress.com/12-artists/stella-atal/

Ebijuliziddwamu okuva wabweru wa Wikipedia[kyusa | edit source]