Stella Chesang
Stella Chesang (yazalibwa nga 1 ogwe Kumin'ebiri mu 1996) muna Ugandaomuddusi wa misinde miwanvu eyavuganyaanko mu mpaka za 2016 Summer Olympics mitazi 5000 eza bakyaala. Mu Gw'okuna mwaaka gwa 2018 yawangula omudaali gwa zaabu mu mitazi 10,000 mu mpaka z'amawanga agaliko amatwaale ga Bugereza ezayindira muGold Coast, Queensland, Australia.
Ebimukwatako n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Chesang yazalibwa mu mweezi gwe Kumi n'ebiri ku kyaalo Serere mu gombolola ye Benet mu Disitulikiti ye Kween, mu buva Njuba bwa Uganda, bazadde be ye Juliet Cheptoris ne Patrick Kusuro. Ye mwaana ow'okubiri mu famile eya'abaana omwenda . Yasomera ku Benet Primary School nga tanakyusibwa kutwalibwa ku Chemwania High School mu Kween gyeyamalira omutendera ogusooka mu sinia "O-Level studies."[3] Oluvanyuma yatikirwa digiri mu sayansi w'emizanyo ku Yunivasite ya Kyambogo.
Obuwereza bwe mu poliisi
[kyusa | edit source]Yayingizibwa mu Pollisi ya Uganda nga ofiisa wa poliisi era nga omukiise ku kirabu ya Poliisi eya baddusi.[4] Oluvanyuma lw'okuwangula omudaali gwa Zaabu mu mpaka z'amawanga agaloko amatwale ga Bungereza eza 2018, Chesang yalinyisibwa edaala mu poliisi okuva ku kya Special Police Constable (SPC) n'afulibwa Yinsipekita wa Poliisi (IP).[5]
Omulimu gwe ogw'okudduka
[kyusa | edit source]Mubiseera by'okusoma kwe ku mutendera gwa pulayimale, yawangula buli mpaka zeyetabangamu. Yaweebwa sikaala enzijuvu ebbanga lye ery'emyaaka 4 ku mutendera gwa siniya ogusooka ku ogwa Siniya. Nga ali mu siniya ey'okusatu, Satya Chemonges, maneja w'ekibiina ki Kapchorwa Athletics Association yasaba bazadde ba Stella agende atandike okubeera mu nkambi ye okusobola okutendejebwa wamu ne bane abalala abalina ekitone ky'okudduka buli kadde. Wano weyasangibwa okuyingizibwa mu Kiraabu ya poliisi ya Uganda.[6]
Yawangula empaka zabanantamegwa b'ensi yonna ez'okudduka nga balinnya ensozi mu 2015[7] n'eza banantamegwa ba Uganda zi mubuna byaalo mu 2016.[8]
Okuvuganya ku mutendera gw'ensi yonna
[kyusa | edit source]Osolbola okulaba nebino wamanga
[kyusa | edit source]- ↑ Uganda Radio Network (9 April 2018). "Chesang wins Uganda's second gold in Australia". The Observer (Uganda) Quoting Uganda Radio Network. Kampala. Retrieved 23 April 2018.
- ↑ Uganda Radio Network (9 April 2018). "Chesang wins Uganda's second gold in Australia". The Observer (Uganda) Quoting Uganda Radio Network. Kampala. Retrieved 23 April 2018.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs namedTwo
- ↑ Allan Chekwech, and Darren Allan Kyeyune (22 April 2018). "The quiet, humble life of golden girl Chesang". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 23 April 2018.
- ↑ Isabirye, David (20 April 2018). "Uganda Commonwealth medalists earn promotion in the National Police Forces". Kampala: Kawowo.com. Retrieved 23 April 2018.
- ↑ Allan Chekwech, and Darren Allan Kyeyune (22 April 2018). "The quiet, humble life of golden girl Chesang". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 23 April 2018.
- ↑ IAAF: Double gold for Uganda at World Mountain Running Championships.
- ↑ IAAF: Kipyeko and Chesang Victorious at Ugandan Cross Country Championships.