Stella Isodo Apolot

Bisangiddwa ku Wikipedia

Stella Isodo Apolot mubaka wa Uganda mu Palamenti era March 2021 weyatuukira nga ye mubaka w'abakyala omulonde mu Disitulikiti y'e Ngora. Mu by'obufuzi, alina akakwate ku kibiina kya Forum for Democratic Change.

Emirimu gy’eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Yeegatta ku kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) nga ku tikiti yaakyo yavuganyizza mu kulonda kwa bonna mu Uganda okwa 2016 ne 2021 . Yalangirirwa ku kutwaatira ekibiina mu August wa 2020 oluvannyuma lw’okuwangula munne mu kalulu ka primary.

Yasooka kuvuganya ku kifo kino mu 2016 n'akubwa Jacqueline Amongin .

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Apolot yafumbirwa Samuel Isodo, munnamateeka; balina abaana basatu: Apio Joanne, Isodo Arnold ne Okiror AllanBill.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]