Stephen Musota
Stephen Musota Munnamateeka mu Uganda era Mulamuzi, mu Kkooti Ensukkulumu mu Uganda, Kkooti Ensukkulumu ye kkooti enkulu mu Uganda. Omulamuzi Stephen Musota yalondebwa Pulezidenti wa Uganda ng'omulamuzi mu Kkooti Enkulu mu Gwekkumi n'ogumu 2022 era naalondebwa Ssabalamuzi wa Uganda mu Gwoluberyeberye 2023 nga Chief Inspector Of Courts Of Judicature omupya .[1][2] Yalondebwa nga omulamuzi mu kkooti ejulirwamu nga 8 Ogwokubiri 2018.[3]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Uganda, nga mu1959.[4] Yasoma amateeka ku Makerere University, Yunivaasite esiinga obukuku n'obunene mu Uganda, naatikkirwa mu 1982 ne diguli ya Bachelor of Laws (LLB). Omwaka ogwaddako, yafuna Diploma in Legal Practice, okuva ku Law Development Centre, e Kampala, ekibuga ekikulu mu Uganda. Era yafuuka omu ku bannamateeka abakugu mu Uganda.[4]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Mu 1984, yalondebwa ng'omulamuzi mu kkooti ento ku ddala erisooka, weyava naatuuka ku ddala ly'omulamuzi omukulu owa kkooti ento ku ddala erisooka mu 1992. Yakolako nga akulira abalamuzi mu kkooti ento, nga tanafuuka Mumyuka Womuwandiisi era oluvannyuma Omuwandiisi wa Kkooti Enkulu.[4]
Oluvannyuma mu 2000, yakuzibwa naafuuka omuwandiisi omukulu mu kitoongole ekiramuzi, mweyawerereza okutuusa 2004. Mu 2004, yalondebwa ku katebe nga memba mu kkooti Ensukkulumu eya Uganda. Alina obwagazi obwenjawulo mu Mateeka agatabaganya abantu.[4]
Emirimu gye nga omulamuzi
[kyusa | edit source]Yalondebwa ng'omulamuzi mu Kkooti Enkulu eya Uganda mu 2004.[4] Yaweereza ng'omukulu wa civil division mu kkooti enkulu.[5] Mu Gwokubiri 2018, Musota yalondebwa ku Kkooti ejulirwamu eya Uganda, nasunsulibwa Paalamenti ya Uganda ewatali kulemesebwa.[6]
Emirimu gye emirala
[kyusa | edit source]Stephen Musota yaweereza ku kakiiko akakola ennongosereza mu mateeka ga Criminal and Civil Laws mu 2015, kweyalondebwa Ssabalamuzi wa Uganda. Mu 2016, yalondebwa ku kakiiko akakola ku kukendeeza emisango ejiludde mu kkooti mu kitoongole ekiramuzi mu Uganda. Mu 2017, yalondebwa nga memba ku kakiiko akakola ennongosereza mu mateeka ku Civil Procedures mu Uganda.
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.judiciary.go.ug/data/smenu/77//Court%20of%20Appeal.html https://en.wikipedia.org/wiki/Judiciary_of_Uganda
- ↑ http://www.judiciary.go.ug/data/incourt/18/The%20Honorable%20Justices%20of%20the%20Court%20of%20Appeal%20.html https://en.wikipedia.org/wiki/Judiciary_of_Uganda
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-14-new-judges/688334-4296748-plu1x2z/index.html https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 http://chimpreports.com/who-are-the-14-newly-appointed-judges/ Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "4R" defined multiple times with different content - ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/full-list-of-high-court-judges-transfer https://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Radio_Network
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Appointed-judges-vetted-today/688334-4303772-6qspjp/index.html https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
Ewalala w'osobola okubijja
[kyusa | edit source]- High court dismisses sim-card registration application Okutuusa nga 18 Ogwokutaano 2017.