Jump to content

Susan Muwonge

Bisangiddwa ku Wikipedia

Susan Muwonge (yazaalibwa mu 1977) munayuganda omuvuzi wa mmotoka z'empaka era omusomesa. Ayitibwanga 'Super Lady' ne "Queen of Speed", mu 2011 oluvannyuma lw'okufuuka omukyala eyasooka okuwangula empaka z'emmotoka mu Uganda.


Okusoma

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa kitaawe Kitonsa Fred ate nnyina eyafa yali Namukasa Regina era yagenda ku St Mary's Primary School Nabbingo ku Primary School (PLE), yamaliriza Uganda Certificate of Education (UCE) okuva ku St Henry's Buyege Girls化 Secondary School ne Uganda Advanced Certificate of education (UACE) okuva mu Gombe Secondary School. Yasomera mu Makerere University n'afuna diguli ya BBA n'oluvannyuma yeegatta ku Kyambogo University n'afuna ku Bachelor's in Early Childhood Education.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Amangu ng'amaze okuttikirwa,ye n'omwami we Lawrence Muwonge baatandikawo St Francis Junior School mu Buddo Wakiso District. Yagula emmotoka ey'empaka eyasooka, Mitsubishi Evo 2 eyali evugibwa Jamil Ssenyonjo n'atandika okuvuganya mu 2005. Mu mpaka ze ezasooka mu Rakai, yamaliriza mu kifo eky'omukaaga. Omulimu gwe ogw'okuvuga eby'empaka mubutongole gwatandikiira ku Garuga Racing Track mu 2007. Yafuuka omukyala eyasooka okuwangula ekikopo ekya National Rally Championship (NRC) mu Ogwekuminogumu 2011, bweyawangula Ponsiano Lwakataka mu 300 km Independence rally mu Festino City Race Circuit. Muwonge bw'atabeera mu kuvuga motoka za mpaka n'okusomesa, ayagala nyo okulima, okuzannya n'okuyimba.

Awaadi

[kyusa | edit source]
  • Uganda Sports Press Association (USPA) accolade (October 2011)
  • USPA Sports Personality of the Year (January 2012)[1]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0