Template:Featured Article of the day/FAOD-03

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omweso guyinza okuba nga gwe gumu ku mizannyo gy'omu Uganda egy'edda ennyo egy'okwewummulizaako. Amawanga mangi gafaanana okuba nga gamaze emyaka bikumi na bikumi nga baguzannya. Omweso gye gwatandikira tewali amanyiddeyo ddala newankubadde nga waliwo abantu abawa ebirowoozo byabwe ku nsibuko yaagwo.

Ebirowoozo ebyo tebinnafuna bibikakasa mu ngeri ematiza buli muntu. Abatambuze n'abayizi b'ebifa ku mpisa z'abantu ez'obuwangwa, omweso bagusanga ne mu nsi zino eziri ku nkingi za Uganda: Kenya, Sudan, Congo,Rwanda, Tanzania, n'okweyongerayo mu Africa eya wakati. Abantu abamu bagamba nti omweso gwava mu nsi z'ebweru ne guyingira mu Uganda.