Template:Featured Article of the day/FAOD-07
Appearance
Afirika ssemazinga. Afirika lumanyiddwa nga olukalu lw'omwana w'omuddugavu. Lusangibwamu amawanga agawerera ddala 54. Ssemazinga ono wanjawulo nnyo kubanga afumbekeddemu obugagga obw'omuttaka, embeera y'obudde ennungi, abantu abalina empisa n'obuntubulamu, ebisolo eby'omunsiko n'ebinyonyi ebisinga ebitasangibwa ku ssemazinga ndala.
Ku lukalu luno kwe kusangibwa omugga ogusinga obuwanvu mu nsi yonna oguyitibwa Kiyira, n'ennyanja ekwata eky'okubiri mu nsi yonna mu bwaguuga eya Nnalubaale Ssemazinga ono alina abantu ab'enjawulo, aboogera ennimi ez'enjawulo era nga balina n'obuwangwa obwenjawulo. Abafirika boogera ennimi enzaaliranwa eziwerera ddala enkumi bbiri.