Template:Featured Article of the day/FAOD-08
Barbara Kaija era Munnamawulire akolera mu Uganda ate ng’er munnabyanjigiriza akola nga Ssaabasunsuzi mu (Group Editor-in-Chief) mu kitongole kya Vision Group ekifulumya empapula z’amawulire omwo nga mw’otwalidde n’olupapula lw’Olungereza olufuluma buli lunaku, New Vision. Ayagala nnyo ebyamawulire ate ng’era ayagala nnyo okuyigiriza abalala. Okusinga ennyo yettanidde nnyo ekisaawe ky’obunnamawulire ekiyitibwa era ng’ayambye Bannayuganda bangi mu kukulaakulanira mu bunnamawulire ng’abalungamya mu bye bakola. Mu 2012 yaweebwa ekitiibwa kya " National Jubilee Award, olw’okusiima emirimu gye gy’akoze. Ate mu Gwokusatu 2011, olupapula lw’Amawulire olwa Daily Monitor, olumu ku makampuni ga Aga Khan-agagwa mu Kitongole kya Nation Media Group, baamwogerako ng’omu ku byakyala 50 mu Uganda enjasabiggu mu byenkulaakulana "Today’s Uganda Top Fifty Women Movers".