The mith

Bisangiddwa ku Wikipedia

  THE MITH, ng'erinnya lye ery'obuzaale ye Thomas Mayanja, muyimbi wa rap mu Uganda era mmemba mu kibiina kya rap ekimanyiddwa nga Klear Kut. Ye omu ku bayimbi ba rap abasinga okuba ab'enkizo mu Buvanjuba bwa Afirika. Akolaganye ne Khaligraph Jones, Ay, Ruyonga, Navio n'abalala bangi. Mu ngeri endala era asiimibwa olw'obutambi bwe obwa hip-hop ku mukutu gwe ogw'oku YouTube. Abamu ku baalabikira mu butambi mulimu St Nelly Sade, Lyrical G, Ruyonga, Tucker Hd, Navio ne Play 01. Mu gwaka gwa 2018 yali omu ku bakaawonawo mu lyato eryabbira ku nnyanja Nalubaale, bwe yali anyumirwa obulamu n'abantu abalala okwali Irene Namubiru n'abantu abalala abacakaze.

Okuyimba[kyusa | edit source]

"The mith" yatandika olugendo lwe mu buyimbi mu mwaka gwa 1999 ng'ali mu kibiina kya Klear Kut. Ekibiina kino eky'abantu abataano omuli Navio, Papito, Abba Lang, JB, ne The Mith, kye kyasooka okuba ne vidiyo mu Uganda eyafulumira ku MTV. Mu ngeri endala era kyalondebwa mu mwaka gwa 2002 mu mpaka z'engule z'abayimbi mu Afirika yonna mu matuluba g'ekibiina ekisinga okuwa essuubi n'oluyimba olw'omwaka olumanyiddwa nga All I Wanna Know. "The mith" afulumizza entambi bbiri ng'omuyimbi omu, "Destination Africa" ne "The week of September". Alina n'ennyimba endala ennyimpimpi gamba nga "Fire" ne "Ogambaki". Alabiseeko ne mu kuyimba okw'omukago n'abayimbi ab'ebweru gamba nga "Paper" ft Navio n'omuyimbi wa rap mu ggwanga lya Nigeria ayitibwa Ice Prince, Let them know ft Ay ow'omuTanzania, Khaligraph Jones ow'omu Kenya.

Ennyimba ze[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Obulandira[kyusa | edit source]