Jump to content

Theodore Ssekikubo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ssekikubo Theodore.jpg

Ssekikubo Theodore yazaalibwa nga 20 Ogwomunaana 1969 e Ssembabule, Munnabyabufuzi mu Uganda. Akiikirira essaza y'a Lwemiyaga , Sembabule disitulikiti mu lukiiko lw'eggwanga olukulu.[1]

Ku Makerere yunivaasite, yakola diguli mu Social Sciences, diguli eyookubiri mu Public Administration and Management ne diguli mu mateeka. Ku Law Development Centre, Kampala, yafunayo dipulooma emukkiriza okuteekesa mu nkola amateeka.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Bwe yali tannayingira byabufuzi, yakolako mu miisitule y'ebyokwerinda ng'omumyuka wa ssaabawandiisi. Yakolako ng'omusomesa ku Ndejje Yunivaasite okuva mu 1998 okutuuka mu 1999.[2] Mu 2016, Ssekikubo yayingira olwokaano lw'omumyuka w'omukubiriza wa paalamenti wabula n'awangulwa Jacob Oulanyah kati omumyuka w'omukubiriza wa paalamenti.[3]

Okusibwa

[kyusa | edit source]

Nga 10 Gatonnya 2020, yakwatibwa olw'okukuma mu bantu omuliro mu bitundu ebyali biteekeddwamu kkalantiini y'ente. Yateebwa ku kakalu nga 14 Gatonnya wabula n'addamu n'akwatibwa nga 16 Gatonnya.[4]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-30. Retrieved 2021-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.parliament.go.ug/ssekikubo-theodore/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-06-27. Retrieved 2021-08-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.pmldaily.com/news/2020/01/police-explains-mp-ssekikubo-rearrest.html