Timothy Awany
Timothy Dennis Awany yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 6 mu mwezi ogwomunaana mu mwaka gwa 1996, nga munayuganda azannya omupiira gwe ogw'esiimbi mu kiraabu ya F.C. Ashdod ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga ng'omuzibizi
Kiraabu z'azannyiddemu
[kyusa | edit source]Awany azannyira kiraabu y'ekityongole kya gavumenti ekivinaanyizibwa ku by'emirimu gy'omu kibuga kya Kampala gyebayita Kampala Capital City Authority.[1]
Mu mwezo ogw'omusanvu mu mwaka gwa 2019, yeegaata ku ttiimu esinganibwa mu liigi y'e Yisirayiri eyababinywera gyebayita F.C. Ashdod.[2]
Ng'ali ku ttiimu y'eggwanga
[kyusa | edit source]Awany yazannya omupiira gwe ogwali gusooka ku ttiimu ya Uganda ey'eggwanga mu mwaka gwa 2016,[1] nga yateekebwa ne ku ttiimu eyali egenda okuzannya empaka z'ekikopo ekyetabwamu amawanga g'okusemazinga w'okulukalo lwa Afrika ez'omwaka gwa 2017.[3]
Ebibalo bye nga bw'azze akola
[kyusa | edit source]Ttiimu y'eggwanga | Omwaka | Emirundi gy'abazannyidde | Ggoolo z'ateebye |
---|---|---|---|
Uganda | 2016 | 3 | 0 |
2017 | 10 | 0 | |
2018 | 6 | 0 | |
2019 | 10 | 0 | |
2020 | 2 | 0 | |
2021 | 3 | 0 | |
Omugate | 34 | 0 |
- ↑ 1.0 1.1 1.2 Template:NFThttps://www.national-football-teams.com/player/61928.html
- ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.national-football-teams.com/player/61928.html - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)http://www.fufa.co.ug/total-africa-cup-nations-2017-uganda-cranes-23-man-squad-gabon-named/