User:Prossy Tulinomubezi

Bisangiddwa ku Wikipedia

[[user: Prossy Tulinomubezi/ NNYAZAALA MOTHER IN-LAW

Nnyazaala mu Buganda abeera mukyala azaalira omukazi yenna omwami era buli mukamwana mu Buganda ateekeddwa okuwa omukyala oyo ekitiibwa kubanga ayinza okuviirako okunywera oba okusasika kw’obufumbo. Tewali mizizo wakati wa mukamwana ne nnyazaala we era bwe babeera n’enkolagana ennungi ebintu ebisinga bayinza okubikolera awamu omuli; okufumba, okulima oluusi n’okwambalira awamu. Wabula ebiseera ebimu kibeera kizibu mukamwana ne nnyazaala we okukwatagana obulungi olw’ensonga nti abaana abalenzi batera nnyo okwagala ennyo bannyabwe nga tebannaba kuwasa wabula oluwasa omukwano oggwo gusinga kuweebwa mukyala wamu n’ebintu ebirungi ekireetera ba nnyazaala abamu okufuna obuggya.