User talk:Kikanja john baptist
Tandikawo emboozi endalaOKULIMA ENNYAANYA
[kolera mu edit source]OKULIMA ENNYAANYA
[kolera mu edit source]Olwareero tugenda kutunurira kukilime ky'enyaanya ,omuntu okulima ennyaanya otekeddwa kukola bino wammanga . Ffuna obusigo bw'ennyaanya ennungi ddala ngazino mulimu oxly,Eden ,Rionex,n'ekika kya Maximal. Ennyaanya zino zibala bulungi ate nga mpangaazi ddala ng'omaze okuzinoga .
OKUKOLA BEEDI Y'ENNYAANYA.
Ffuna ekifo ekilina ettaka eggimu obulungi ,kabala bulungi ekifo kino era bwekiba nga ettaka siddungi tekamu ebigimusa nga kalimbwe w'enkoko .
Ppima fuuti 3 obugazi nobuwanvu bwonna bwoyagala okusinziira kubungi bwensigo gyolina .
Mansa obusigo oluvannyuma obikkeko ettaka ettonotono awo obikeko ebisubi ,fukirira wo amazzi bwekuba kwamusana okumala ennaku 6-7 olyoke obikuleko ebisubi ng'obusigo bumeze awo ozimbeko akayumba okwewala omusana.
Ngawayisewo wikisi 2 tandika okukendeeza ebisubi ku beedi ennyaanya zisobole okumanyiira embeera yobudde naye tewerabira okufuyiirako eddagala ly'ebiwuka.
Ngawayisewo wikisi ssatu ku nnya tandika okusimbuliza ennyaanya zino munnimiro ewedde okutegekebwa.
OBA.
Ffuna kalimbwe w'enkoko omutabule bulungi n'ettaka , Ffuna obuveera ngabuno mwebassa kalitunsi otekeemu ettaka lino awo yiwamu amazzi agokya okusobola okutta obuwuka obuyinza okutta ennyaanya zo ,oluvannyuma ettaka nga liwoze tekamu obusigo bubiriburi mubuli kaveera .
EBIGIMUSA EBIKOZESEBWA KUNNYAANYA.
Bw'oba otandise okusimbuliza osobola okukozesa ebigimusa bino ,singa ettaka liba ngalibi kozesa kalimbwe w'enkoko ez'amaggi ng'ono omussa mukinnya n'omutabula n'ettaka awo nosimbamu ebikolo b'yennyaanya bibiri mumabanga agasanidde .oba osobola okukozesa NPK akasanikira kekiddomola kamu , kayiwe mukinnya otabule n'ettaka oyiseewo ennaku 3-4 ow'olyoke osimbe ennyaanya zo . E bigimusa ebifuyirwako mulimu NPK super green ng'ono ayamba nnyo okukwasa ekimuli nekimera okubeera nga kyakiragala bulungi. Tulinamu booster ng'ono ayamba nnyo mukugezza entengo ,Tulinamu allwin gold ng'ono ayamba ennyaanya okumulisa ennyo n'okukwasa ekimuli ate nokuleeta amatabi amalala . Tewerabira okubikka ennyaanya zo.
LWAKI TUBIKKA ENNYAANYA
1, Okubikka kuyamba omulimi kumuddo obutamera. 2 , Okubikka kuyamba ettaka okukuuma amazzi. 3 , Okubikka kuyamba ennyaanya obutaliibwa magongolo. 4 , Okubikka kuyamba okwongera kumutindo gw'ekimera ky'ennyini nga tekisamukilwako ttaka .
EDDAGALA ELIKOZESEBWA MUKUFUYIIRA ENNYAANYA.
Tulina eddagala lyabika bingi ngalino mulimu Rocket ,Dudu cyper ,Turfgor ,Harvester n'ebirara bingi ,Tulinamu eddagala eliyitibwa fungalcil ne harvester ngalino likozesebwa kukibabuko [blight] era tulina n'eddagala ly'obuwungo eliyitibwa mancozeb oba dayisiini ngalino liyamba nnyo okukendeeza amazzi mubikoola by'ennyaanya .
OBULWADDE OBUTAWANYA ENNYAANYA .
1 ,Tulinamu obulwadde bwakiwotoka era buno ebiseera ebisinga tebulina ddagala ngera butera nnyo okubeera muttaka ly'omukisennyi . 2 , T ulinamu ekilwadde ky'e kibabuko [blight] era nga kino osobola okukozesa Fungalcil ne Harvester okukigoba . 3, Era tulinamu n'ekilwadde ky'ekigennge nga kino osobola okukozesa eddagala eliyitibwa Dudu acelamectin okukigoba ,kati gwe omulimi wekwate bino oleme kwejjusa .
Bannange ebiwooma biggwa byokya ne walungi tewaba wammwe .okulima bugagga ate nenkumbi telimba gw'akutemyako oyagala wambazzi tandika nange leero tojjakwejjusa .
NSIGADDE NZE KIKANJA JOHN BAPTIST
0759-241-525. MBAZZI.
MUKAMA ABANKUUMIRE TUNADAMU NATE ERA.
Sandbox link
[kolera mu edit source]Hello! It is nice that you want to use a sandbox to test your edits, but you cannot put a link to it on the main page. That page is what everybody see when they come to Luganda Wikipedia and you probably do not want them to go to your sandbox. Otherwise, keep up the good work! --Ainali (talk) 17:32, 9 Gwamukaaga 2014 (UTC)