User talk:Mbazzivillage
TUGENDE TULIME,TUGAGGAWALE!!!!!
Nga Uganda kati eweza kumpi abantu miliyooni 35,Abantu bonna balina okulya n'okunywa!!! Eryo tteeka!! Ensangi zino,Ensimbi ziri mu bya bulimi- Okulima n'okulunda!!! Byonna bigendera wamu ,olwo ne biyambagana!!! Ensolo zigimusa ennimiro, olwo ebimera ne byeyagala. Wabula okufuna mu bulunzi n'obulimi,oteekeddwa okubala ennyo buli ssente yonna gy'oteekamu. Obulimi olina okugifuula bizinensi ye nnyini. Omulimi w'omulembe guno asaana okubeera omukugu mu byakola. Obukugu buno bufunika oluvanyuma lwokuddingana ebyo byokola mu butuufu bwabyo. Omulimi ateekeddwa okuba omumaliririvu. Okumanya tekukoma. Mu bulimi,olina okufunayo bye wesibako. Tosobola kukola buli kimu. Olina okufuna wossa essira. Byolima ne byolunda biteekwa okuba ku mutindo. Anti ebirungi, buli omu abiyaayanira. Wateekwa okubaawo enkolagana ne balimi bano,olwo ne muwangana amagezi. Ku mulembe guno, anagaggawala yoyo analima era n'alunda !!!
Commons photographs: Paul, could you please provide written permission on Commons for their use under a free license? Tony1 (talk) 11:20, 25 Gwakkuminebiri 2013 (UTC)