Jump to content

Usher Komugisha

Bisangiddwa ku Wikipedia
Usher Komugisha

 

Usher Komugisha (yazaalibwa mu mwaka gwa 1987 oba1988 (emyaka wakati wa 35–36)[1][2]) Munnayuganda munnamawulire w'ebyemizanyo era n'omwogezi we mizannyo jy'emipiira, eyaliko munnamizanyo. N'obumanyi bwa mwaka kumi ne ttaano nga munnamawulire w'ebitongolo byamawulire eby'enjawulo, Yakolako Al Jazeera, BBC, CNN, ESPN, International Basketball Federation (FIBA), Sky Sports and SuperSport. Ye mwogezi wa Basketball Africa League (BAL).[3] Mu ngule za 2020 Momentum gsport Awards, ye yali omuwanguzi mu kibinja kya "African Woman in Sport" mu Johannesburg, South Africa.[4]

Ebimukwtako

[kyusa | edit source]

Emyaka emito n'emisomo

[kyusa | edit source]

Usher Komugisha yazzalibwa mu Kilembe, mu katiDisitulikitti ye Kasese, mu bugwanjuba bwa Uganda, era alina bakulu be abalala: mwanyina we Campbell Nagaba ne muganda we omuwala Mellisa Fiona.[5] Bazadde be baali bazannyi b'emizannyo,[6] era nagamba mu 2020 interview: "Nze mbadde njagala nga emizannyo jy'akapiila okuva mu buto bwange kubanga bazadde bange bantandisa okusoma ebitabo n'amawulire g'abulijjo okuva nga nkyaali muto nyo, nayagala nga nyo okubeera oyo omuwala amanyi ebintu bingi nga abalala tebanba nze nsobole okubinyonyola. Bwe ntunula emabega, ekyo kyanzimba okuba munnamawulire."[4]

Mu bissera by'okusoma kwe, yazanya emizannyo mingi, omwaali dodgeball, volleyball, okubaka, lawn tennis, cycling, golf, n'okuba omulungi ennyo mubyo;[5] bwe yasomera mu Kibuli Secondary School, Omusomesa wenselo - omuzannyi w'enselo mu Uganda ow'olulango, Eric Malinga, yamukuutila okuzanya omuzannyo guno nga attadeyo omwoyo, era yayongera okuba omuzanyi w'enselo nga avudde mu somero. yawangula National Schools Championship mu mwaka gwa 2006 era nakikilila Uganda mu mizannyo gya East Africa Secondary School Games mu bissera bya summer mu Dar es Salaam, Tanzania. [6] Yagenda ku Makerere University okusoma diguli ya Bachelor of Arts in Economics, naye yasalawo akugivaako era nasaalawo okwetabba mu by'amawulire g'emizannyo nga ayigila ku mulimu. Yafuna diguli ya master's in football business management okuva ku ttendekero lya Sports Business Institute, Barcelona bwe bamutikila mu Gwomukaaga gwa 2023. [6]

Mu Gwekumi 2008, nga akyadde ku Situudiyo za Power FM Studios, Komugisha yasabibwa munnamawulire amanyikiddwa Mark Ssali okwogera ku mpewo ku byomuzannyo gw'ensolo, era omwaka ogwaddako nga yeyimiliddwa munne Joseph Kabuleta, yatandika okuwereza ku by'emizannyo mu New Vision nga awereddwa omukisa okuva eyali omuteesiteesi w'emizannyo Sports Editor Louis Jadwong.[6] The International Sports Press Association (AIPS) yamweyimirira okuweereza emizannyo gya 2012 London Olympics nga amaliriza pulogulamu y'okumuteekateeka ku 2011 World University Games in Shenzhen, China eyategekebwa International University Sports Federation (FISU).[6] Yakolera mu Uganda okutuusa mu Gwomunaana 2013, bwe yafuna omulimu mu Kigali, Rwanda.[6]

Komugisha aweereza emizannyo gy'emipiira ejy'amaanyig omuli 2019 FIBA Basketball World Cup, n'emizannyo essattu ejya Africa Cup of Nations (AFCON) omuli n'emirala.[7]

Mu mwaka gwa 2021, yayogelera omuzannyo gwa Basketball Africa League (BAL) mu Kigali.[8]

Mu Gwekuminogumu - Ogwakuminabbiri 2022, yali kakensa woku TV ya Al Jazeera ku FIFA World Cup mu Qatar wamu ne bannamawulire be mipiira obamanyikiddwa ennyo nga Gemma Soler okuva e Spain ne Juan Arango Omucolombia.[8][9][10]

Usher era mukwasaganyi n'omwereza w'emizannyo ejyamaanyi mu mawanga g'ebweru nga the sports panel with the FIFA President Gianni Infantino ne CAF President Dr Patrice Motsepe ku 2022 Commonwealth Business Forum mu lukiiko lwa Commonwealth Heads of Government Meeting mu Kigali, Rwanda. Era yayogerera emizannyo gya Moving Sports Forward Forum mu mwaka gwegumu ogwategekebwa Pulezidenti wa Toronto Raptors Masai Ujiri mu Kigali, Rwanda.

Ayagala nyo okuwa amagezi eri abo abawala n'abalenzi abato abandiyagadde okusoma emisomo jy'emipiira naddala abo mu Ssemazinga Afirika.

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://web.archive.org/web/20221211135304/https://www.theeascene.com/kilembe-shoots-and-scores-with-usher-komugisha/
  2. https://satisfashionug.com/satisfashion-ugs-wcw-today-is-sports-journalist-usher-komugisha/
  3. https://blizz.co.ug/9713/Abryanz-Style-And-Fashion-Awards-ASFAs-Releases-Full-List-of-2022-Nominees-In-19-Categories
  4. 4.0 4.1 https://gsport.co.za/africas-usher-komugisha-humbled-by-momentum-gsport-award/
  5. 5.0 5.1 https://en.wikipedia.org/wiki/OkayAfrica
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 6.4 6.5 https://leoafricareview.com/feature/251/usher-komugisha-from-queen-of-kwepena-to-globetrotting-sports-pundit/
  7. https://pluggedaily.com/2022/11/21/world-cup-ugandas-usher-komugisha-will-be-lending-al-jazeera-her-sports-analysis-prowess/
  8. 8.0 8.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-10. Retrieved 2024-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-10. Retrieved 2024-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]